Omuvubuka yeesudde okuva mu mwaliiro gw'omusanvu ku Mabiriizi Complex n'agwa wansi

By George Bukenya

ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Mabirizi Complex ekisangibwa ku Kampala Road baguddemu ekikangabwa omuvubuka ateeberezebwa okuba mu myaka 25, atannategeerekeka mannya bwe yeesudde mu luguudo okuva ku mwaliiro ogw'omusanvu n'agwa n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ataawa.

Mabirizi1 350x210

Abudalah Ssentamu omu ku bakoleera ku kizimbe kino era abaddewo ng'omuvubuka ono yeesuula agambye nti yasoose kwegezaamu okumala eddakiika 10 abantu nga bwe bamuyita aveeyo kyokka n'agaana era ekiddiridde kwesuula. 

Bwe yeesudde asoose kuggunda ku mmotoka ebadde mu paakingi olw'amaanyi amangi n'agwa mu luguudo.

Poliisi ya CPS ezze n'emuyoolawo n'emuddusa mu ddwaaliro e Mulago ng'asigaddeko kikuba mukono.