Ab'ettima balumbye abafumbo mu nnimiro emisana ttuku ne babatta ng'abaana baabwe balaba

By Luke Kagiri

Abatuuze mu disitulikiti y’e Mityana baguddemu ekikangabwa, abantu ab’ettima bwe balumbye abafumbo ne basalaasala n’ebiso ne babattirawo emisana ttuku!.

Ttemu 350x210

Bya Luke Kagiri

Abatuuze mu disitulikiti y’e Mityana baguddemu ekikangabwa, abantu ab’ettima  bwe balumbye abafumbo ne basalaasala n’ebiso ne babattirawo emisana ttuku!.

Abafumbo abattidwa ye; Ezekia Nangoma ne bba George Kabali 48, abatuuze ku kyalo Mutetema mu ggombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana.

Yadde babadde babeera Mutetema kyokka n’e Kabowa – Kampala babadde balinayo amaka.

Kigambibwa nti abagenzi babadde n’enkaayana z’ettaka nga bo be babadde bannannyini ttaka kyokka nga waliwo abasenze bwe bagugulana n’okukaayanira ettaka lino.

Abazigu okulumba abafumbo bano baabasanze mu nnimiro n’abaana baabwe bataano ne babatta nga n’abaana baabwe balaba era n’omu baana yafunye ekisago mu kanyoolagano ng’agezaako okutaasa bazadde be.

Emirambo gy’abagenzi Poliisi yagitadde ku kabangali yaayo ne gitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Mityana okwekebejjebwa n’oluvannyuma ne giddizibwa abooluganda okukola ku by’okuziika.

baana babagenzi nga bali mu kiyongobero Abaana b'abagenzi nga bali mu kiyongobero

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Region, Nobert Ochom yalabudde abantu abalina enkaayana z’ettaka okukozesa ekitongole kya poliisi eky’ebyettaka okulaba ng’ensonga zigonjoolwa mu mateeka so ssi kutwalira mateeka mu ngalo.

Abatuuze baalajanide Gavumenti okwongera okulwanyisa abeesenza ku ttaka okutangira ettemu mu kitundu kyabwe kuba lifuuse baana baliwo!

Enkayana ze ttaka zirudde nga zibonyabonya abantu be Mityana ne Mubende nga bangi basenguddwa aate abalala basula ku tebukye.


Omwezi oguwedde, omubaka omukyala owa palamenti owa Mityana Judith Nabakooba ne ssentebe Joseph Luzige batandika okutalaaga disitulikiti nga banonyereza ku buli nkayana naye babadde tebanatuuka Kalangaalo.


Bano batabndikira mu gombolola ye Kikandwa, bagenda e Maanyi ne Kakindu.