Kanyama abba n'addukira mu mwala gwa Nakivubo ayogedde abamutuma

By Eria Luyimbazi

POLIISI mu Kampala ekutte kanyama ali mu kibinja ky’ababbi abateega abantu ne bababba ne baddukira mu mwala gwa Nakivubo n’ayogera abatuma.

Jjemba1 350x210

POLIISI mu Kampala ekutte kanyama ali mu kibinja ky’ababbi abateega abantu ne bababba ne baddukira mu mwala gwa Nakivubo n’ayogera abatuma.

Faisal Jjemba 28, ow’e Zzana mu Zooni I yakwatiddwa poliisi ya CPS oluvannyuma lw’olukumulondoola n’emukwata ng’aliko omuntu gw’asikambulako akasawo n’addukira mu mwala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Paul Kangave yagambye nti Jjemba ne banne beefuula abatunda ebintu ku luguudo lwa Allen Road okuliraana Ppaaka ya bbaasi kyokka nga babbi.

Kangave yagambye nti oluvannyuma lw’okukwata Jjemba, yabuulidde poliisi ebintu by’abba ku bantu omuli amasimu, obukuufu n’ebirala era omunyago bagukwasa Shafi k (lyokka ly’amanyi) n’abawaamu ssente.

Jjemba yaloopye ne munne Kanyankole bwe bateega abantu ku mwala gw’e Nakivubo wakati w’essaawa 3:00 ez’oku makya okutuuka 2:00 ekiro.

Yagguddwaako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro SD 27/01/10/2016.