Beeyamye okukwasiza ku Gavt. okulwanyisa enjala mu ggwanga

By Herbert Musoke

Aba Grain Council basuubizza okukolagana ne Gavumenti okulwanyisa enjala ekudde ejjembe naddala mu byalo

Grain2 350x210

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mmere y'empeke mu Uganda kisuubizza okwongera okunyweeza enkolagana ne gavumenti okuyita mu minisitule y'obusuubuzi, amakolero n'obwegassi okulaba nga kiyambako okulwanyisa enjagala eyolekeedde eggwanga olw'ekyeeya ekiremesezza emmere okukula obulungi.

Bw'abadde ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawaulire ku kitebe ky'ekitongole kya The Grain Council of Uganda e Bukoto, Chris Kaijuka omu ku bakulira ekitongole agambye nti wadde wabaddewo ekyeya n'emmere n'etakula bulungi, bbo balina emmere kubanga bakolagana n'abalimi wamu n'abasuubuzi era singa bakwatagana obulungi ne gavumenti basobola okuyamba abantu ba bulijjo.

Akulira enkola y'okutereka ebirime mu sitoowa za Gavumenti (Uganda Warehouse Receipt system Authority) Deborah Kyarasiime, agambye nti gavumenti ng'eyita mu nkola eno esobola okuyamba abantu bonna.

Kyarasiime agamba nti waakubeerawo olukung'aana lw'abantu abalina emirimu egy'enjawulo gye bakola ku mmere y'empeke okutandikira ku balimi okutuuka ku basuubuzi n'abaliko bye bakolamu n'abatunda bye bakozesa olusookedde ddala mu Uganda ng'abanaalwetabamu bagenda kukubaganya ebirowooza ku ngeri y'okutumbula emmere eno. Olukung'aana lwa kubumbujjira ku Serena International Conference Center mu Kampala okumala ennaku bbiri.