Gavumenti esabiddwa okussa ssente mu tendekero ly'ebyobulimi e Kampiringisa

By Musasi wa Bukedde

Gavumenti esabiddwa okussa ssente mu tendekero ly'ebyobulimi e Kampiringisa

Tu1 350x210

ABABAKA ba palamenti abatuula ku kakiiko kebyenfuna n'abatuula ku kebyobulimi basabye Gavumenti eyongere ssente mu tendekero lye Kampiringisa ery'ebyobulimi n'obukulembeze ekifo kyokuziyiwa mu nteekateeka ezitayambye bantu baayo. 

Ababaka bano nga bakulembeddwamu Saida Bumba omubaka wa Nakaseke bwe babadde balambula etendekero lya Kampiringisa National Farmers and Leadership Centre basiimye Gavumenti ya South Korea okudduukirira abalimi ba Uganda ne basaba Gavumenti okwongera ssente mu tendekero lino lisomese bannayuganda ebyobulimi.

Basiimye enteekateeka ya Korea eya KOICA eya bulungi bwansi ekulaakulanyizza ebyalo bya Mpigi Bumba n'asaba ebbago lya Bulungi bwansi liyisibwe enkola ya bulungi bwansi efuuke ya buwaze kiyambeko ebyalo okwekulaakulanya byoka.


Ambasada wa South Korea Park Jong Bae alambuzza ababaka ebikolebwa ku tendekero lino okuli okusomesa abakulembeze bebitundu bya Uganda byonna obulimi n’obulunzi , okukola bulungi bwansi nkugabira abalimi enkoko,ente n'ebirala.

Ambasada Park agambye nti nga bayita mu nkola ya bulungi bwansi Uganda yaakukulaakulana mu mwaka mitono okufaananako South Korea eyali mu bwavu n'ekyuka mu bbanga ttono nga bagitandiseewo.

 



Saida Bbumba asabye babaka banne bonna okugenda mu tendekero lino basomesebwe oluvanyuma baddeyo basomese abantu baabwe basobole okwegya mu bwavu.

Amyuka ssentebe w'akakiiko kebyobulimi Robert Migadde omubaka wa Buvuma asabye Gavumenti okukendeeza ku nsimbi z'eteeka mu minisitule yebyobulimi eziteeke mu tendekero lino bakendeeze ku njala eruma abantu ng'ate minisitule efuna ssente nyingi.

Asabye Gavumenti essira eriteeke ku kusomesa balimi n'okubateekamu omutima gw'okwagala ensi yaabwe nga bakola bulungi bwansi n’okukuuma
obutonde bwens