Nadduli asabye Pulezidenti Museveni ku kyeya

By Musasi wa Bukedde

MINISITA akola guno na guli, Hajji Abdul Nadduli asabye Pulezidenti Museveni amukwase omulimu gw’okuzzaawo ebibira mu ggwanga okusobola okulwanyisa ekyeya.

Wate70342217034221 350x210

BYA SARAH TUSHABE

MINISITA akola guno na guli, Hajji Abdul Nadduli asabye Pulezidenti Museveni amukwase omulimu gw’okuzzaawo ebibira mu ggwanga okusobola okulwanyisa ekyeya.

Nadduli agambye nti ebitongole ebirina obuvunaanyizibwa okukuuma ebibira byesuuliddeyo gwa naggamba kwe kulaba ng'abantu basanyizzaawo ebibira ekiviiriddeko eggwanga okulumbibwa ekyeya.

“Eggwanga litubidde mu kyeya ekyeraliikirizza buli muntu nga kino kivudde ku balina okukuuma ebibiira abaava edda ku mulimu gwabwe nga kyetagisaamu abalwanyi nga nze okukwasibwa omulimu guno tuzzeewo ebibira,” bw'atyo Nadduli bwe yagambye.

Bino Naduli yabyogedde awayaamu n’omusasi wa Bukedde n'ategeeza nti Pulezidenti asaanye amukkirize amuwe omulimu gw’okuzzaawo ebibira wamu ne balwanyi banne abalina omutima gw’obutonde bw’ensi okusobola okulwanyisa ekyeya.