Omusamize akaligiddwa emyaka 45

By Musasi wa Bukedde

Omusamize akaligiddwa emyaka 45

Mus1 350x210

Bya Phiona Nannyomo

KYADDAAKI omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka John Eudesi Keitirima asingisizza omusamize omusango era bwatyo n'amukaliga emyaka 45 mu nkomyo.

Steven Wasswa 62 yakiguddeko bwasingisiddwa omusango gw’okubuzaawo omwana Resty Nakirijja Hope n'ekigendererwa eky’okumusaddaaka mu mwaka gwa 2008.

Omusamize Wasswa okusingisibwa omusango guno kiddiridde abajulizi abawerako okuvaayo ne bamulumirizza nga bwe yalina kyamanyi ku kubuzibwawo kwa Nakirijja olw’ebigambo eby’obusaggwa byeyawandanga.

Okusinziira ku bujulirizi obwaleetebwa mu kkooti eno ,omulamuzi Keitirima kwasinzidde n'asindika mu nkomyo amaleyo emyaka 45 era n'ategeeza nga Wasswa bwatasaanye ku beera mu bantu nga Uganda ekyagenda mu maaso n’okulwanyisa ekisaaddaka baana.

Abantu beeyiye mu kkooti eno era bafulumye nga bebazza omulamuzi Keitirima engeri gyasazemu omusango guno era nebasaba abalamuzi wamu n’ebitongole ebikuma ddembe okubayambako ku basamizze abasusse okwerigisa nga ekigota entula nga basanyawo obulamu bw’abaana babwe mu ngeri y’ekyeyononere.

Kinajjukirwa nti Resty Nakirijja yabuzibwawo nga wa myaka 2 nga 9/06/2008 era naddamu okuzuulibwa nga asuuliddwa mu kisaka kyo  ku kyalo njagala kasaayi mu ggombolola ye kiseeka mu disitulikiti ye Lwengo oluvannyuma lw’omwaka mulamba.

Omwana ono bwe yamala okubuzibwawo bwatyo Wasswa naye n'abula ku kyalo wabula n'asigala nga awereeza obubaka obwenjawulo eri bazadde ba Nakirijja obw'obusagwa ku mwana waabwe