Katikkiro wa Bungereza alagidde ebyokwerinda okunywezebwa e Manchester

By Musasi wa Bukedde

BAMBEGA ba Bungereza ab’ekibinja ekya Mi16 babakanye n’okunoonyereza ku ngeri abatujju aba ISIL gye baaluse olukwe mwe battidde abantu 22 n’okulumya 119 e Manchester.

157229951e1495501946975 350x210

Katikkiro wa Bungereza May Mary Theresa alagidde aba Mi 16 okumuwa lipoota mu ssaawa 24 zokka nga balaga engeri abatujju gye baaluse olukwe ne basobola okuyita ku kkamera, Satellite n’ebyuma ebya tekinologiya ow’ekika ekyawaggulu ebiketta.

Ebyakazuulwa biraga nti olukwe lukoleddwa okumala ekiseera. Kyokka ng’enteekateeka z’okulussa mu nkola zimaze emyezi ena.

KINO BAAKIKOZE BATYA?

Waabaddewo okusuula ennanga ku ludda lw’ebitongole bya Bungereza ebikessi, ekyayambye abatujju okutwala obudde nga balambula ebifo ebyenjawulo ebiyinza okulumbibwa.