Aba UYD bayimbudde abagenda okukuuma akalulu ka Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Aba UYD bayimbudde abagenda okukuuma akalulu ka Boi Wine

Kom1 350x210

ABAVUBUKA ab'ekiwayi kya DP ekya UYD bataddewo abantu 279 abagenda okuweebwa omulimu gw'okukuuma akalulu ka Bobi Wine ak'e Kyaddondo East okulaba nga akalulu ke tekabbibwa wadde okubulankanyizibwa.

Mulukung'aana lw'abannamwulire lwebatuuzizza olwaleero ku London House, abavubuka bano ababadde bakulembeddwaamu omuwndiisi waabwe amanyiddwa nga Charles Wasswa bategeezezza nti enkyukakyuka ezaakoleddwa akakiiko k'eby'okulonda ne bakyusa abakulira okulonda mu Kyaddondo ne baleeta abantu abalala kibawanise emitima nga bagamba nti kino kyandiba nga kikoleddwa okutaataaganya akalulu ka Bobi Wine.

Bano bategeezezza nti oluvannyuma lw'okutegeera kino te bayinza kutuula era nabo bataddewo abantu basatu basatu ku buli kifo ekirondebwamu okwetoloola ebifo 93 ebigenda okulondebwamu.