Omulamuzi alagidde abaatulugunyizibwa ku by'okutta Kaweesi batwalibwe mu ddwaaliro

By Alice Namutebi

Omulamuzi wa kkooti enkulu Margaret Oguli alagidde abantu abaakwatibwa ku by'okutta Andrew Felix Kaweesi batwalibwe mu ddwaliro bakeberebwe oba nga ddala baatulugunyizibwa nga bwe boogera.

Kyunya1703422703422 350x210

Omulamuzi Oguli alagidde abasibe bonna batwalibwe mu ddwaliro erijjanjaba abatulugunyiziddwa erya African Center for Rehabilitation of  torture victims e Kamwokya  mu kifo ky'eddwaliro ly'e Luzira. 

Oguli okulagira batwalibwe mu ddwaliro eritali lya gavumenti kivudde ku ndabika y'abasibe abamu abatambulira ku miggo n'agamba nti abasawo bonna e Luzira bakozi ba gavumenti tabasuubira kuwa  lipooti yeetongodde. 

Kuno agasseeko nti abasibe bamaze emyezi egisukka mu 3 nga bakuumibwa mu kkomera kyokka nga tebaweebwa bujjanjabi kwe kulagira eddwaliro eryetongodde libakebere n'okubajjanjaba. 

Alagidde nti bwe baba bakeberebwa tayagala poliisi oba muntu mulala yenna kubaawo era nga lipooti eraga ebizuuliddwa erina okuleetebwa mu kkooti mu wiiki 2 okuva olwaleero.