Abaakattibwa e Nansana baweze 14

By Musasi wa Bukedde

Omukozi w’awaka, Justine Ssanyu yagambye nti abatemu baamusibye ggaamu ku mimwa ne batulugunya mukama we ng’alaba.

Kyandali1 350x210

Bya J. MAKUMBI, KIGONGO SSEBALAMU, G. SSEMPIJJA, ERIA LUYIMBAZI NE ROGERS KIBIRIGE

OKUTTIBWA kwa Juliet Kyandali 35, omusuubuzi w’amatooke mu katale e Kasubi kuwezezza omuwendo gwabakazi 14 abattiddwa mu kitundu kino!

Abasse Kyandali baasoose kumukubira ssimu ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ng’ali mu maka ge e Gganda mu ggombolola ya Mumyuka Wakiso okumpi ne Nansana kyokka n’agaana okubasisinkana ng’agamba nti obudde bwabadde buzibye kyokka ne balemerako.

Nga bayitiridde okumukubira essimu yagguddewo oluggi n’afuluma ng’ayogera ku ssimu oluvannyuma lw’eddakiika nga ttaano yakomyewo mu nju.

Ekiro baamuyingiridde ne bamutta, omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi mu lukuubo lw’enju ye nga guli bukunya.

Ku mutwe kwabaddeko ebiwundu bibiri, mu mugongo kimu. Baamulesezza abaana basatu.

Omukozi w’awaka, Justine Ssanyu yagambye nti abatemu baamusibye ggaamu ku mimwa ne batulugunya mukama we ng’alaba.

Obwedda bamuvunaana okubaggyako omulimu n’aguwa abalala ne bamusaba ssente n’ezaabadde ku ssimu ne baziggyako nga tebannamutta.

Ettemu e Ntebe

Okuttibwa kwa Rosette Nakimuli kulinnyisizza omuwendo gw’abawala abattiddwa e Ntebe okutuuka ku bataano mu bbanga lya myezi esatu. Nakimuli 27, ow’e Katabi ye yaakasembayo okuttibwa mu ngeri ey’entiisa oluvannyuma lw’okusobezebwako ekirindi.

Yatemuddwa nga July 24, 2017 bwe yabadde ava ku mulimu ng’adda e Katabi gy’abadde asula.

Baamusobezzaako omulambo gwe ne bagufumita ebiti mu bukyala ne bagusuula mu nnimiro okuliraana Jantos e Kitala nga bamwambudde engoye zonna.

Muganzi we Anatolie Ndyabagira yategeezezza nti yasembye okwogera naye akawungeezi ku ssimu n’amutegeeza nti yabadde agenda ku mulimu kyokka essimu gye yazzeemu okufuna ng’emutegeeza nga bw’attiddwa. Norah Wanyana abadde asomera mu Airforce Secondary ng’abeera Nkumba Central yatemuddwa nga July 21, 2017.

Wanyana yasobezeddwaako abavubuka abooluganda babiri Ibrahim Jjingo ne Muhammad Sebadduka ne bamusonseka ebiti mu mbugo.

Poliisi yabakutte n’ebaggalira balindiridde kusimbibwa mu kkooti. Aisha Kasowole abadde omutuuze w’e Nkumba yatemuddwa July 13, 2017 ng’ava okukola.

Okufaananako ne Wanyana, Kasowole baasoose kumusobyako oluvannyuma ne bamusonseka ebigoye mu kamwa n’ebiti mu mbugo.

Faith Komugisha 31, abadde amanyiddwa nga Jamirah mu kabuga k’e Nkumba gy’abadde asiikira Cipusi, abavubuka baamuteega ng’ava ku mulimu ekiro nga June 7, 2017 ne bamusobyako.

Bwe baamala ne bamufumita ebiti mu mbugo ng’omulambo gwe gwasangibwa mu kkubo abantu we bayita.

Goreti Nansubuga 19, ow’e Nkumba naye yattibwa mu ngeri y’emu bwe yali ava ku mulimu okuliraana yunivasite y’e Nkumba we yali asiikira ebyokulya. Ono yali lubuto lwa myezi mukaaga era baasooka kumusobyako omulambo ne bagusuula mu nsiko.

Omuduumizi wa poliisi y’e Ntebe, Godfrey Ninsiima yategeezezza nti baakakwata abantu 150 mu bikwekweto eby’enjawulo. Abatuuze baalaze okutya olw’ettemu eryeyongera ne bategeeza poliisi nti abantu be bakwata bandiba nga si be batuufu.

KAYIHURA ALAGIDDE KU TTEMU

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura awadde abaserikale ebiragiro bitaano bye balina okuteeka mu nkola okumalawo ettemu mu Kampala n’emiriraano.

Gen Kayihura era yawadde abaserikale ebbanga lya wiiki emu okulaba nga bamaze okulwanyisa ettemu lino n’okukwata abalyenyigiramu bavunaanibwe.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi ku Mmande ya wiiki eno, nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura kye yaweerezza omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa yalagidde okulonda obukiiko obunaalawuna ebyalo ne ba ‘Crime Preventer’ nga bakolagana butereevu n’abakulira poliisi z’ebitundu nga balina okulawuna okuva ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo okutuusa essaawa 3:00 ez’oku makya nga bano bajja kusobola okukuhhaanya amawulire agali mu bitundu byabwe.

Yalagidde abaserikale okuddamu okulawuna ebyalo nga bakozesa pikipiki nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu nga buli kimu kirimu abaserikale mukaaga nga bonna balina emmundu.

Kino balina okukikola essaawa 24 nga kijja okuyamba okuletawo okutya mu bazigu ettemu likendeere.

Poliisi mu bitundu eby’enjawulo erina okukwatagana n’abakulembeze b’ebyalo ba LC , GISO n’abatuuze okukola enkalala z’abo be bateebereza okuba abamenyi b’amateeka mu bitundu eby’enjawulo ng’amannya abatuuze ge banaawaayo poliisi ejja kutandika okunoonyereza ku bantu bano.

Kayihura yalagidde abaserikale okukola ebikwekweto mu bitundu byonna ebituumiddwa’ Dumisha Salaama’, nga bigendereddwaokugogola ebitundu okukwata abamenyi b’amateeka abali mu bitundu.

Yabalagidde okukuba enkiiko abaserikale basobole okusisinkana abantu naddala abakazi n’abawala abazigu be beesomye okukolako ebikolobero nga bannyuka ku mirimu kuba be basinze okutuusibwako ebikolwa eby’obukambwe.

Gen Kayihura era yalagidde omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano n’abaserikale abali wansi we okumuwa lipoota ku ngeri gye baakolamu emirimu gyabwe.