'Essimu yatutabudde ne mmutta'- Okoth

Nakutte akambe ne mufumita nga bw’anneegayirira mmusonyiwe nga simufaako era nnalabye aweddemu amaanyi ne nsibawo oluggi ne nfuluma.

 Matovu ng’ali ne mukyala we Natoolo eyattiddwa Okoth (mu katono)

Bya Joseph Makumbi

OMUVUBUKA eyasse muganziwe abadde akola mu bbanka, Fahima Natoolo ayogedde eby’abaddewo n’ekyabatabudde.

Andrew Okoth ng’ali ku poliisi yategeezezza Bukedde Online nti bwe baabadde awaka, yagenzeeko mu kinaabiro omuwala n’asigala ng’atudde ku buliri.

‘‘Nagenze okufuluma ekinaabiro, ng’ali ku ssimu alina b’anyumya nabo ku WhatsApp. Nagenze okulaba tanfaako ali ku ssimuye kwe kumubuuza be yabadde anyumya nabo abatamuganya kumpa budde n’anziramu nti nange nnina essimu eyange njogerereko!.

Wano obusungu bwanninnye ne nsooka nkwata paasi ne ngimukuba n’emenyeka waliwo ebyatika ebyabadde okumpi omuli endabirwamu byagudde ne byatika era bye bansaze ekigere.

Nakutte akambe ne mufumita nga bw’anneegayirira mmusonyiwe nga simufaako era nnalabye aweddemu amaanyi ne nsibawo oluggi ne nfuluma.

Nasibidde mu kalwaliro ne bazinjajaba ne ngenda okwekweka ewa mukozi munnange. Eno baliraanwa be gye bandabidde ne bandoopa ku poliisi.”

Bba gwe baamufumbiza asitudde enkundi

Mansoor Matovu 34, omutuuze w’e Nabweru ng’akolera Zambia mutabani wa Haji Yusufu Matovu ne Hajati Sulaina Namanda ab’e Kinoni e Ssembabule yagambye nti; Nakomawo mu ggwanga ku Lwakutaano nga taata mulwadde.

Nnali ntambula mu kibuga, nasisinkana mukwano gwa mukyala wange Aisha Binti eyantegeeza enkeera nti Fahima yali abuze okumala ennaku ssatu.

Ku Ssande yaddamu n’ampereza obubaka nti Fahima bamuzudde yattiddwa, ate nga musajja ye yamusse.

Natandise okukuba amasimu ne nzuula nti mukyala wange yattiddwa.

Natidde nnyo ne neekweka era saaziise era olw’ekyo neetondera abakadde bansoyiwe naye natidde nga ndowooza bayinza okunkwata ku bintu bye simanyiiko.

Omusajja aludde ng’amutawaanya

Wadde abadde yanfumbirwa naye omusajja oyo Okoth teyaggyamu muliro abadde amutawaanya.

Yamukubiranga essimu ekiro ne tukyusa layini z’essimu emirundi egiwera naye nga tewayita wadde omwezi ng’agifunye ne twebuuza engeri gy’azifunamu okutuusa lwe nabuuza omukazi ky’amwagaza kwe kungamba nti abeera ayagala kumanya mwana we bw’ali.

Wabula baasigala bakukuta era lumu tuba tuli ku buliri ne ndaba ennukuta z’akozesa okuggulawo essimu ye (Password) bwe yavaawo n’agenda okunaaba ne ngikebera ngenda okutuuka mu WhatsApp ye nga Okoth ye muntu gw’abadde asinga okunyumya naye nga beeragirira n’aw’okusisinkana naye ne nguma.

Nasaba tusisinkane abakadde ensonga tuzoogereko wabula twali tetunnaba ate ne tufuna obuzibu obwatutabulamu.

Nabadde waakuddayo ku Lwomukaaga lwa wiiki ejja era mbadde ntegeka kudda mu Uganda ntandike obulamu obupya ne mukyala wange naye tekyasobose n’ennaku z’okuddayo nazongezzaayo.

Baatuwowa ne Fahima mu bufumbo nga July 13, 2014 era tubadde tetwawukanangako.