Omugagga Sudhir ayungudde balooya kabiriiti okumuwolereza

By Musasi wa Bukedde

KKAMPUNI ya Bannamateeka eya Kampala Associated Advocates (KAA) ejjudde balooya abagundiivu omuli n’eyaliko omuwabuzi omukulu owa Gavumenti mu by’amateeka Peter Kabatsi n’eyaliko akulira abalamuzi mu ggwanga Herbert Ntabgoba.

Waka1 350x210

Ng’oggyeeko Kabatsi ne Ntabgoba, abalala ye; Elly Karuhanga, Elison Karuhanga, Dr. Kallu Kalumiya, Sam Mayanja, Oscar Kambona, ne Joseph Matsiko eyaliko omuwaabi ow’emisango gya Gavumenti.

Abalala ye Bruce Musinguzi, Augustine Idoot Obilil, Jet Tumwebaze, Isaac Kyagaba, Dennis Otatiina, Pearl Nyakabwa, John Musiime, Catherine Nansubuga, Leonard Businge, John Bulungu, Nicholas Kihangire ne Phoebe Murungi.

Bruce Musinguzi yali omu ku balooya abawolereza kkampuni y’essimu eya MTN ng’emegga ginnaayo eya UTL.

Mukugu nnyo mu misango gy’ebyobusuubuzi. Yali looya wa MTN mwe yameggera omubaka wa Bugweri Abdu Katuntu mwe yali agivunaanira okukozesa enkola ya ‘mobile money’ mu bumenyi bw’amateeka.

Yali omu ku balooya mu musango gw’ekitongole ky’ebyempuliziganya mu ggwanga nga kittunka ne kkampuni ya South Africa, Traces TV (Uganda) Ltd, eyali yaweebwa obuvunaanyizibwa okukung’aanya ssente ku ttivvi mu myaka etaano.

Wabula guno Musinguzi ne banne gwabamegga. Yali omu ku balooya ba Pulezidenti Yoweri Museveni mwe yameggera Amama Mbabazi mu musango gw’Ebyokulonda.

Elison Karuhanga ye yali looya w’akakiiko k’ebyokulonda mu musango ogwo era yaliko munnamateeka wa DFCU Bbanka.