Omwana atemyetemye kitaawe kujula kumutta lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

OMWANA atemyetemye kitaawe ng’amulanga okumugaana okutunda ettaka ly’ekiggya.

Tema1 350x210

Henry Lukenge ow’e Kikindu mu ggombolola y’e Ssingo mu disitulikiti y’e Mityana ye yatemye kitaawe, Lawrance Walugondo 60, ow’omu kitundu kye kimu.

Kigambibwa nti, Walugondo aludde ng’agugulana ne Lukenge ku nsonga z’ettaka lino kyokka bulijjo ensonga bazimalira mu kakiiko ka LC I.

Ku Lwokutaano, Lukenge yalumbye kitaawe ng’abagalidde ejjambiya mu kirombe gy’akubira amatoffaali.

Lukenge yasabye kitaawe olukoba n’alumumma, kwe kumutemaatema ku mutwe, amagulu n’emikono.

Abatuuze baamutaayizza kyokka nabo n’abaleegamu ejjambiya.

Baakubidde poliisi y’e Mityana n’amukwata.

Baamuddusizza mu ddwaaliro e Mityana kyokka oluvannyuma baamwongeddeyo e Mulago gye bamujjanjabira kati.