Stecia agenze Mecca okusabira bba Mubiru ave mu bufere

By Musasi wa Bukedde

Stecia Mayanja owa Golden Band, y’omu ku Basiraamu, 800 abasitula leero ( Lwakusatu) okulamaga e Mecca ne Madiina mu Saudi Arabia.

Mangu1 350x210

Maneja we Musa Kavuma agenda kufuuka Al-hajji ate Stecia wanaaddira ng’ekitiibwa kya Hajjati akirina.

Stecia yategeezezza nti ekimututte okulamaga kutuukiriza mpagi y’Obusiraamu eyookutaano kyokka tagenda kwerabira kusabira bba, Abasi Mubiru okulaba nga Allah amuggya ku bikolwa by’obufere.

Abasi azze akwatibwa n’okuvunaanibwa olw’emisango gy’obufeere ng’egisinga gyekuusa ku ttaka.

Yagambye nti bw’akomawo tajja kuddamu kwambala bugoye bumpi. Sheikh Yahaya Lukwago, omu ku bakulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okulamaga yategeezezza nti Abasiraamu abagenda mu mulundi guno bangi.