Abasuubuzi mu katale k'e Kasubi balaajana

By Moses Lemisa

Abasuubuzi mu katale k'e Kasubi balaajana

Ji1 350x210

ABASUUBUZI  b’omu katale ke Kasubi basattira oluvannyuma lwe nakku ezabaweebwa KCCA okuva mu kkubo erigenda okuyisibwaamu oluguudo okuggwaako nga tebannafuna webadda.

Nga 7/ June omwaka guno  Kcca yalagira abasuubuzi b’omu katale ke Kasubi okukavaamu nga baaweebwa emwezi esatu  okunoonya gye balaga nga mu kiseera kino abasuubuzi basaba nti myezi giweddeko naye tebannafuna ssente zifuna kifo kirala we bagenda kudda.

Ronald  Zibu Ssentebe w'akatale  ategeezezza nti  tebagaana nkulaa kulana ya luguudo era tebasobola kugyemera mateeka wabula obuzibu bwe balina nti ebanga eryabaawebwa tebasobola kufuniramu ssente zigula oba okupangisa ekifo bagira basaawo akatale .

Yagambye nti ekifo omuli akatale wagenda kuyisibwawo oluguudo ng’era oluguudo luno lutuuse e Nankulabye ekitegeeza nti baddako Kasubi.

Agasseeko nti ng’abakulembeze b’akatale batabuddwa kuba gye bagenda okuzza abasuubuzi abasoba 3000/ Steven Katakuzi  akulira ebyokwerinda  mu katale ategeezezza nti obuzibu bwe basinze okufuna  abamu ku basuubuzi ensonga y’okuggyawo akatale bagitaddemu eby’obufuzi nga kino nakyo kikyalemesezza abakulembeze okusalawo ekyenkomeredde