Abadde asengula abeebibanja e Gomba bamukubye ne bamutta

By Paddy Bukenya

PATRICK Birimuye yasimbudde e Bwaise mu Kampala ng’ali ne banne ne boolekera e Maddu mu Gomba bataase ettaka. Ago ge maaso ge baasembye okumukubako era abooluganda lwe kye bazzeemu okufuna, y’essimu ebategeeza nti bamuttidde mu lutalo lw’ettaka!

Omugenzibirimuyeattiddwangabwabaddeafaanana 350x210

Ettaka erikaayanirwa lisussa yiika 300 kyokka zaasengebwako abantu abasukka mu 200 abaava e Kyankwanzi.

Abasinga ku bano balaalo era bajja n’ente zaabwe, kyokka kuliko n’abajja nga tebalina kantu abaali batunuuliddwa ng’ababundabunda era ne batandika okulimirako.

Akakuubagano katutte ekiseera nga nnannyini ttaka agezaako okusengula abantu b’agamba nti baasenga ku ttaka lye mu bumenyi bw’amateeka.

ENGERI GYE BASSE OMUNTU

Ababeera ku ttaka lino baludde nga beekokkola omugagga Kihigi gwe bagamba nti enteekateeka gy’alina ya kubasengula bonna asibe ffaamu ku ttaka lino eriri ku kyalo Kammengo mu muluka gw’e Maddu mu ggombolola yeemu ey’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba.

Patrick Birimuye 25, abadde akolera mugagga Kihigi era yakwataganye ne bavubuka banne ne bagenda okutaasa ettaka lya mukama waabwe.

Birimuye ng’ava e Bwaise ku Lwokuna, yategeezezza abooluganda lwe nti yabadde waakudda kw’olwo, wabula baamulinze nga tebamulaba era baategedde Lwakutaano nti omuntu waabwe yattiddwa mu lutalo lw’okutaasa ettaka lya mukama we.

Kigambibwa nti buli ludda luludde nga lulaalika lunnaalwo nti ka gwake k’etonnye, obwannannyini bugenda. Baludde nga beewera nti ne bwe kinaaba kyetaagisa kuyiwa musaayi gunaayiika.

Joseph Kezaala, kansala akiikirira omuluka gw’e Maddu ku lukiiko lw’eggombolola y’e Maddu yagambye nti Birimuye yajjidde mu kibinja ky’abavubuka abaabadde bazze okusengula abantu ku ttaka; wabula abatuuze ne batabuka era olutalo ne lutandika.

Abavubuka bano obwedda be boogerako nga bakanyama b’omugagga, kigambibwa nti bajjidde mu takisi ssatu nga zikulembeddwa emmotoka ekika kya Noah egambibwa nti ye yabaddemu omugagga.

Olutalo bwe lwatandise, emmotoka ya Noah n’ebulawo; olwo Birimuye ne banne ne batandika okulwanagana n’ebbiina ly’abatuuze eryabadde lyekunze.

Waliwo omuntu eyatemezza ku batuuze nti omugagga yabadde ayungudde ekibinja kya bakanyama babasengule era ne beetegeka n’amajambiya, emiggo n’amayinja.

Ebbiina ly’abatuuze lyasinzizza bakanyama amaanyi. Abavubuka 17 baafunye ebisago kyokka ne basimattuka, wabula Birimuye mu kudduka yasirittuse n’agwa era awo we baamusanze ne bamutemaatema.

Poliisi okuva e Maddu yasanze Birimuye asigaddeko kiyiriitira. Baamuyoddeyodde ne bamuddusa mu ddwaaliro ly’e Maddu n’akutuka nga baakamutuusaayo.

Kezaala yagambye nti ejjambiya gye baatemye Birimuye ku nsingo ye yamumalirizza kubanga ensingo yasigadde ereebaaleba era omusaayi gwabadde gufukumuka guva mu kiwundu ky’oku nsingo.

Omulambo gwe gwatwaliddwa mu ggwanika e Maddu, okutuusa abooluganda lwe bwe baagenzeeyo okuguggyayo. Abaalumiziddwa baafunye obujjanjabi obusooka mu ddwaaliro e Maddu, oluvannyuma ne bongerwayo mu malwaliro amalala.

BAKUTTE ABATUUZE 14

Poliisi yatandikiddewo omuyiggo ku bantu abaatwalidde amateeka mu ngalo.

Aduumira poliisi mu disitulikiti y’e Gomba, John Oese yagambye nti abantu 14 abateeberezebwa okutemaatema Birimuye babakutte era baggaliddwa ku poliisi ng’enteekateeka ezibavunaana obutemu, bwe zikolebwa.

Yagambye nti abasinga baabakutte bagezaako okudduka ne babaggalira ku poliisi e Kanoni we bakuumirwa.