Gwe baalumirizza okutta abawala e Nansana ayogedde omugagga amutuma omusaayi

By Musasi wa Bukedde

POLIISI bwe yakutte omusajja agamba nti waliwo omugagga abadde amutuma okutta abawala amutwalire omusaayi, Gen. Kale Kayihura n’agamba ab’e Nansana nti: Kiwedde; omutemu abadde atta abakazi tumulina – yakkirizza nti yaakatta abakazi munaana!

Pata1 350x210

Bya JOSEPH MAKUMBI, MAURICE KULABAKO NE ABU BATUUSA

Kayihura yagambye nti bwe baakutte Ibrahim Kaweesa omutuuze w’e Nansana yabategeezezza nti, yaakatta abawala munaana mu bitundu by’e Nansana n’emiriraano era n’alumiriza omugagga abatuma omusaayi gw’abawala asobole okwongera ku bugagga bwe.

Kayihura yagumizza ab’e Nansana nti omutemu baamukutte n’ababuulira buli kimu era tebalina kuddamu kweraliikirira ku kintu kyonna kubanga baamututte Nalufenya gye bamukuumira.

Ku butemu bw’e Nansana, baalumirizza omugagga Tumuhimbise kyokka ate ku butemu bw’e Ntebe ne boogera ku Ivan Katongole.

Mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwabadde e Katabi, erinnya ly’omugagga Katongole lyayogeddwaako.

Abakazi 19 be baakattibwa mu myezi esatu mu Kampala n’emiriraano nga ku bano 7 babattidde Ntebe. Ettemu mu bitundu by’e Ntebe lisinga mu bitundu bya Katabi Town Council okuli; Nkumba central, Nkumba Bufulu, Bayitaababiri, Kitala, Kasenyi ne Kavundira.

Katongole yasimbiddwa mu maaso g’abatuuze mu lukiiko olwayitiddwa omuduumizi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa n’agamba nti, ebimwogerwako si bituufu.

Yagambye nti abatuuze bamukwatirwa buggya kubanga mugagga ate nga ssente ze azikoze batunula nti era abamu ku bamuwaayiriza be bataagala kukola.

N’asaba omuntu yenna alina obujulizi, aveeyo abutwale ku poliisi bave mu hhambo kuba zimuttira erinnya lye ly’azimbidde ebbanga.

Katongole yategeezezza nti okumala gayingiza linnya lya muntu mu kintu ekinene ng’obutemu tekikoma ku kumwonoonera linnya wabula kiteeka obulamu bwe mu katyabaga. Katongole alina bizinensi ez’enjawulo e Ntebe era alina ne bbiici.

ABAKUGU BAKUBYE EBITULI MU KUNOONYEREZA KWA POLIISI

Wabula abakugu mu kunoonyereza ku misango omuli n’abaserikale ba poliisi, bawadde Kayihura amagezi obutasooka kwejaga nnyo kw’ono gwe yakutte kubanga waliwo abantu abamu abeewaako obujulizi naye ng’obujulizi obwo bwetaaga okutaganjula ennyo.

Abakugu babiri abaamala emyaka emingi mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango baataddewo ebibuuzo ebirina okulowoozebwako ennyo ku butemu buno:

l Abakazi abatemuddwa bangi ku bo basooka kusobezebwako ne babatuga era ne baleka nga babambudde. Omusaayi ogwogerwako baguyisa wa, ng’emirambo mingi gisangiddwa tegiriiko bisago?

l Okutuma omuntu omusaayi kyekuusa ku busamize, wabula ate abakazi abatemulwa bamala kusobezebwako. Kino kisoboka kitya nga mu bulombolombo bw’abasamize, gye boogerako nga ssaddaaka erina okuba nga ‘nteefu’?

 en ayihura wakati ngalambula ekitundu kye ganda gye baatemula omusuubuzi wamatooke Gen. Kayihura (wakati) ng’alambula ekitundu ky’e Gganda gye baatemula omusuubuzi w’amatooke.

 

lKijja kitya okuba ng’obutemu buno buli mu bitundu bya mirundi ebiri we bwezinze?

lKu buli muwala gwe batta, poliisi ebadde ekola ebikwekweto ku bakireereese n’abanywi b’enjaga mu kitundu. Kiki ekireeseewo embeera y’obutemu buno okugenda mu maaso wakati mu kusiba abateeberezebwa?

lObuvumu abatemu babuggya wa okutta abakazi mu bifo ng’e Ntebe bye bamanyidde ddala nti birina obukuumi obw’amaanyi, olw’amaka g’Obwapulezidenti agaliyo?

lAbamu ku bazze bakkiriza emisango gy’obutemu okuli abaatemanga abantu e Masaka wamu ne be baakwatira e Busoga ne bakkiriza okutta Bamaseeka, ate bwe kituuka ku kutwalibwa mu kkooti, emisango bagivaako. Kaweesa tayinza kusimattuka ng’abo abaasimattuka?

lPoliisi erimu bannamateeka nga ne Gen. Kayihura naye yasoma mateeka, kijja kitya nga ne gye buli eno, Kaweesa tatwalibwanga mu kkooti kukola sitetimenti emunywereza ku musango (Extra judicial statement)?

lOmusajja ono bukya akwatibwa, tatwalibwanga kwekebejjebwa mutwe. Kino kijja kitya ku musango omunene ogw’okutta abakazi munaana?

Abaserikale bano abaawummula abataayagadde kwatuukirizibwa baagambye nti okunoonyereza ku buzzi bw’emisango kulimu obuzibu bungi obwetaaga okukolwako, emisango gisobole okuggusibwa kubanga buli lwe giggusibwa kitiisa abamenyi b’amateeka.

Baagasseeko nti mu poliisi mulimu abaserikale abanoonya obuganzi ew’omuduumizi wa poliisi nti era bwe balaba embeera ey’ebibuuzo ebingi, bakwatayo abantu abazzizza emisango emitonotono ne babamatiza bakkirize mu maaso g’omukulu nti be bali emabega w’obutemu obuba buliwo era bamala kubakakasa nti bajja kubayambako okuva ku misango egyo.

Fred Egesa eyaliko mbega wa poliisi wabula nga kati yeekozesa yekka mu kunoonyereza ku misango agamba nti, omuntu anoonyereza ku musango alina okwekenneenya omuntu akwatiddwa n’akakasa nti obujulizi bw’awa bukwatagana n’ebizibiti.

Yagasseeko nti, omusajja eyavaayo ne yeewaako obujulizi nti ye yayokya Amasiro g’e Kasubi baamukebera omutwe ng’alina ekizibu ku bwongo; n’awunzika nti si buli akkiriza omusango nti abeera yaguzzizza.

Abakazi abattiddwa kuliko; Rosette Nakimuli, Norah Wanyana, Aisha Kasowole, Faith Komugisha ,Goreti Nansubuga, Juliet Kyandali, Aisha Nakasinde, Sarah Nakajjo n’abalala.