Aweze okukuba akulira poliisi

By Moses Lemisa

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata omukubi w’ebikonde abatuuze gwe balumirizza okutambula n’ebisi n’okutunda enjaga kyokka n’alabula abaserikale nti ssinga bamulemerako ajja kubayiiwa amannyo ng’avudde e Luzira.

Ongom1 350x210

  Bya MOSES LEMISA

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata omukubi w’ebikonde abatuuze gwe balumirizza okutambula n’ebisi n’okutunda enjaga kyokka n’alabula abaserikale nti ssinga bamulemerako ajja kubayiiwa amannyo ng’avudde e Luzira.

Yusuf Obuggwa 27 ow’omu Zooni ya Lufula ku Kaleerwe omukubi w’ebikonde mu Kololo Boxing Club abatuuze be baamulonkomye ku poliisi nga bw’aludde ng’abatigomya ekiro ng’akuba baasangiriza ebikonde n’abanyaga sso ng’atambula n’ebissi n’okutunda enjaga.  

Akulira poliisi y’oku Kaleerwe, Isaac Ongom ye yakuliddemu ekikwekweto mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri.

Kyayindidde mu bitundu omuli Kaleerwe, Kyebando, Mulago ne Mpereerwe ng’awamu abantu 15 be baayooleddwa.  

Obuggwa ng’ali ku Poliisi yasoose kulabula Ongom nti ssinga agenda mu maaso n’okumulemerako, ajja lumu kumuyiwa amannyo kuba talina bujulizi bumala bulaga nti akuba abantu okuggyako ye omusango gw’amaanyi gwa kutunda njaga ate nga gwo tegusobola kusibisa muntu kuba si gwa kutta.

 ngom ku kkono ne buggwa Ongom (ku kkono) ne Obuggwa.

 

“Nze lwakuba amateeka g’ebikonde ge ganfuga kati naye gwe afande nkukuba ekikonde kimu ne nkuyiwa amannyo era nkulabula nti   singa onnemerako nja kukulagirako.

Ate ekiro we mwankwatidde mwamponye kuba mwabadde ne mmundu,” Obuggwa bwe yalabudde abasirikale.

Abalala abaakwatiddwa kuliko; Robert Mubiru, Abu bakari Lubulwa, Tonny Tengo, Abdul Mugerwa, John Bwete, Charlse Nkoyoyo, Siraje Ssemakula ne Iman Ssemakula.

 Ongom yategeezezza nti okusinziira ku kunoonyerezza kwa poliisi, Obuggwa y’omu ku bavubuka ab’omutawaana ababadde banoonyezebwa poliisi okumala ekiseera era yagguddwaako emisango ebiri okuli ogw’okutunda ebiragalalagala oguli ku fayiro nnamba SD:03/29/08/2017 n’ogw’okutambula n’ebissi oguli ku Fayiro nnamba SD:04/29/08/2017.