‘Abaana abato be basinga okututigomya’

By Musasi wa Bukedde

Abatuuze b’e Kawempe basabye Gavumenti esseewo etteeka erikwata abaana abato kuba be basinga okubatigomya Bwe baabadde mu lukiiko olwatudde mu Kidokolo Zooni mu Munisipaali y’e Kawempe, abatuuze beemulugunyizza ku bubbi obweyongedde mu kitundu kyabwe ng’obusinga bukolebwa baana abali wakati w’emyaka 14 ne 17.

Wotwali1 350x210

Bya MABLE NAKABUGO

Abatuuze b’e Kawempe basabye Gavumenti esseewo etteeka erikwata abaana abato kuba be basinga okubatigomya Bwe baabadde mu lukiiko olwatudde mu Kidokolo Zooni mu Munisipaali y’e Kawempe, abatuuze beemulugunyizza ku bubbi obweyongedde mu kitundu kyabwe ng’obusinga bukolebwa baana abali wakati w’emyaka 14 ne 17.

Olukiiko okutuula kyaddiridde abatuuze b’e Ttula okutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba abaana babiri ne babatta okwabadde Arafat Muwonge 15 ne Bashir Olumu 16, ababadde babeera mu Kiganda Zooni.

Abaana bano baabadde bagezaako okunyaga omukyala eyabadde atambula ng’ava ku mulimu era abatuuze olwabalabye ne babakuba okutuusa bwe baabasse.

Ssentebe w’e Kidokolo, Hajji Hussein Sseguya Kayimbayimba yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka bususse mu kitundu kyabwe ng’obusinga bukolwa abaana abali wansi w’emyaka 18, nga banyaga obusawo bw’abakyala, amasimu, okukwata abakazi, okukuba aba bodaboda obutayimbwa n’okunywa enjaga nga batambulira mu bibinja.

Sseguya yategeezezza nti ekizibu kye balina abaana bano ne bwe bakwatibwa tebatwalibwa mu kkooti kuba bali wansi w’emyaka 18, n’asaba ababaka ku mitendera egyenjawulo ne Gavumenti basseewo etteeka ng’abaana bano bavunaanibwa.

Yategeezezza nti abaana abababba si ba mukitundu kyabwe e Ttula, bava mu Kiganda Zooni nga beekolamu ebibinja okuli, “Kasolo Group” ne “Kifeesi Group” bwe bayita okutigomya abantu nga batandika okubba okuva ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Yasabye akulira poliisi y’e Kawempe DPC Ronald Wotwali n’atwala poliisi y’e Ttula, Dan Ampadde babayambeko ku baana abasusse okubatigomya. Wotwali yategeezezza nti abanywa enjaga etteeka kati libasiba emyaka musanvu oba okusasula engassi etekka wansi wa kakadde.

N’agamba nti abaana abatigomya ekitundu batandise okubayigga era n’agumya abantu nti bwe bakwatibwa balina ebifo gye babakuumira omuli Kampiringisa.

Yasabye bassentebe okussaawo amateeka agafuga ebyalo byabwe ‘ by laws’, okugeza ng’obutatambula kiro kye yagambye nti kijja kwongera okunywezza ebyokwerinda.