Bamutemyetemye ng'abaagala ssente zeyatunze mu birime

By Musasi wa Bukedde

Bamutemyetemye ng'abaagala ssente zeyatunze mu birime

Yah1 350x210

Bya Prossy Kulule

ABANTU ab’ettima balumbye Ssemaka ng’ali mu kinaabiro ne bamusanjaga ebiso omubiri gwonna nga baagala nsimbi ze yatunda mu birime.  

Abadde y’akayingira ekinaabiro nga y’egyeeko engoye kwe kumusanjaga ebiso omubiri gwonna era we bagyidde okumuyamba bamusanze ataawa.

Mzee Ronald Mukiibi omutuuze ku kyalo Lukomera e Luweero y’aleeteddwa mu ddwaliro e Mulago ng’ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okulumbibwa abatemu awaka we bwe yabadde anaaba akawungeezi  kwe kumutematema ebiso omubiri gwonna.

Mukyala we Florence Nakayenga agamba nti abatemu okubalumba ne batemula bba ku lunaku lwa Sande baali mu nnyumba ku saawa nga bbiri nga y’akatwalira bba amazzi g’okunaaba mu kinaabiro .

“Mba n’akamala mu nnyumba edakiika nga ttaano kwe kuwulira omwami ng’awoggana asaba obuyambi kwe kufuluma nga nange ndaya enduulu kyokka nga simanyi gubadde.

Era ngenda okumutuukako nga yenna afuuwa musaayi.Bwatyo bwe yategezezza.  Agamba nti abatemu bamusikambula okutuuka wabweru nga afuuwa musaayi era ngenda okutuuka kwe kulaba abasajja babiri nga babulira mu kisaka.  

Agamba nti mu kiseera ekyo omukyala yayita abatuuze wakati mu kuwoggana kwe kuyoolayoola Mukiibi okumutwala mu ddwaliro lya Lacho e w’obulenzi kyokka abasawo ne balagira okumuleeta e Mulago nga yenna afuuwa musaayi.  Kyokka abamu kubamuyambye bategeezezza nti yandiba nga bamulumbye lwa nsimbi ze yafuna mu sizoni.