Abamenyi b'amateeka babakutte e Gganda

POLIISI y’e Nansana ekoze ekikwekweto e Kyebando ne Gganda n’eyoola abamenyi b’amateeka abasoba mu 50 ababadde batigomya abatuuze ekiro.

 Muwonge ng'agezaako okuwalira obutamutwala.

Bya ROGERS KIBIRIGE

POLIISI y’e Nansana ekoze ekikwekweto e Kyebando ne Gganda n’eyoola abamenyi b’amateeka abasoba mu 50 ababadde batigomya abatuuze ekiro.

Bano baayooleddwa mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri ate abalala ne bayoolebwa ku Lwokubiri emisana era abaserikale baasoose kweriga nabo.

Isma Muwonge ne Hassan Katende baasangiddwa n’omuwala Pross Katushabe e Kyebando mu ggombolola ya Mumyuka Wakiso nga bakommonta enjaga emisana bwe baalabye abaserikale ba poliisi nga babataayizza ne bakola olutalo ne bakubagana n’abapoliisi nga bwe bawera nti ‘tebalina gye babatwala’ ekyawalirizza akulira poliisi y’e Nansana, Micheal Tayebwa okuggyayo bbasitoola n’ayamba ku basajja be ne basinza abayaga amaanyi.

Bano era baasangiddwa ne pikipiki eteeberezebwa okuba enzibe, enjaga, ebiso, obwambe n’ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba.

Katushabe, Muwonge ne Katende bagguddwaako emusango ogw’okusangibwa n’enjaga nga baginywa, okusangibwa n’ebissi ne pikipiki eteeberezebwa okuba enzibe ku fayiro nnamba SD: 60/05/09/2017 ku poliisi y’e Nansana.

Abalala abaayooleddwa mu budde baggaliddwa ku poliisi y’e Gganda ne Kyebando era ng’abaserikale baayise bassentebe ba LCI ne basunsulamu abamenyi b’amateeka ab’olulango era nga bano balindiridde kutwalibwa mu kkooti abalamuzi bwe banaaba bamaze okwediima.

Akulira poliisi y’e Nansana Micheal Tayebwa yagambye nti ebikwekweto bino bijja kugenda mu maaso awatali kubissaako kiseera kigere.