Nnamwandu woomukozi wa Leediyo ayogedde ebikaabizza abantu amaziga

By Musasi wa Bukedde

Nnamwandu woomukozi wa Leediyo ayogedde ebikaabizza abantu amaziga

Mo1 350x210

NNAMWANDU wa Munnakatemba era abadde omukozi wa leediyo, Kizito Kayiira attottodde engeri bba gy’abadde amulagamu omukwano era yatuuka n’okwesonyiwa abakazi abalala n’anywerera ku ye. Faith Kayiira yaleetedde abakungubazi okukulukusa amaziga bwe yabadde attottola bye baayitamu nga baakatandika okwagalana okumugya mu bakazi abaali bamwetoolodde era n’abawangula wadde taludde nnyo naye.

Yeebazizza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu bwe “Nze Kayiira mbadde sinnalwa naye naye neebaza Katonda nti yali yampa omusajja atuukiridde mu buli kimu era mpulira nga ninga amaze naye emyaka ataano kubanga andaze omukwano nga sirina kyenjula era mwami wange wummula Mirembe,” Faith bwe yattottodde wakati mu maziga agaabadde gamuyitamu.

 

Maama w’omugenzi, Florence Nalwoga yamutenderezza nga bw’abadde n’empisa ng’abadde ayagala banne ate ng’atya Katonda . Eyali Minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka era nga ye nnannyini Leediyo ya Akaboozi, Kayira kw’abadde akolera yategezezza nti ye Omugenzi abadde amutwala nga mutabani we kubanga abadde amuyamba ku nsonga za leediyo okutambula nga ne bw’aba si y’alina okubikola naye ng’abikola ku lw’obulungi bwa Leediyo .

Abbey Mukiibi ku lwa bannakatemba banne yategezezza nti bbo mu katemba babadde bamuyita musomesa ng’abadde ayagala nnyo okusomesa abantu. Omubaka Kato Lubwama naye yaziise.

Kayiira yafudde ku Lwakusatu obulwadde bwa kookolo eyava ku kawundu ke yafuna bwe yeekalabula nga yeeyambula essaati mu 2012 era okuva olwo abadde talina mirembe, ng’ajjanjabiddwako mu malwaliro okuli Mulago, Nakasero, Aga Khan e Nairobi ne India.

Yaziikiddwa Lusanja mu ggombolola y’e Katikamu mu Luweero. Yazaalibwa nga 21/12/1973 nga yazaalibwa omugenzi Joseph Ssentamu ne Florence Nalwoga ng’alese bamulekwa bana okuli Ausine Ssentamu, Earon Kabunga, Andew Nanyanzi ne Gabriel Kayiira wamu ne Namwandu Faith Kayiira.