Okusika omuguwa kw'eyongedde ku by'obugagga bya Zigoti

By Musasi wa Bukedde

Okusika omuguwa kw'eyongedde ku by'obugagga bya Zigoti

Zi1 350x210

OKUSIKA omuguwa ku byobugagga by’omugenzi Zigoti (Enock Kisuule Kato) kuzzeemu. Bannamwandu batutte nnamwandu eyali mu maka Rose Nakayenga mu kkooti nga bawakkanya obuyinza obwamuweebwa okuddukanya yekka emmaali ya bbaabwe. Nnamwandu omukulu Federesi Kato yakulembeddemu abalala okuli Allen Ssebowa (alina omwana Adrine Kyenyune wa myaka 2) ne Hamidah Nassali (nnyina wa Hecam Ssebulime) nga bali wamu ne Enock Kyeyune ne Roanld Kaseyi.

Mu February w’omwaka guno, omulamuzi wa kkooti y’amaka Alexandia Nkonge yawa nnamwandu Nakayenga obuyinza okuddukanya ebyobugagga byonna omugenzi bye yaleka. Muno mulimu kkampuni ekola enguudo eya Kato Investment, wooteeri ya ENRO esinga obunene mu kibuga Mityana, ebizimbe, kkampuni ya Zigoti Coffee Works Ltd (ZICOFE) bizinensi ya bbiya wa Nile Breweries gye yali atambuza nga ajenti waayo okuva e Bulenga okutuuka e Kagadi, ettaka, emmotoka n’ebirala ebiri mu buwumbi.

 maka gomugenzi igoti Amaka g’omugenzi Zigoti

 

Kino kye kyatabudde bannanwandu naddala Federisi eyasooka mu maka ne basaba kkooti esazeemu obuyinza obwamuweebwa kuba kyakolebwa mu bukyamu. Okusinziira ku biwandiiko bye baatutte mu kkooti, Federisi agamba nti obufumbo bwa Nakayenga bwa mpewo era mu mateeka tebumanyiddwa, noolwekyo tasobola kuweebwa buyinza buddukanya bintu bya bba. Federisi agamba nti yafumbiriganwa ne Zigoti mu bufumbo obutukuvu mu 1975 ewa ddiisi kyokka Nakayenga naye ne yeenyigawo mu 2011 n’aggatibwa ne Zigoti Kisuule ku St. Apollo Kivebulaya e Nkumba.

Agamba nti olw’okuba obufumbo bwe ne Zigoti obwa 1975 bwali tebusazibwangamu mu mateeka, Nakayenga wadde yagenda mu kkanisa yafuna byoya bya nswa era amateeka tegamumanyi.

Agattako nti, kkooti okumutwala nga muka Zigoti, yawaayo mawulire gaabulimba nti wa mpeta ne bamuwa obuyinza mu butamanya. W’osomera bino, nga kkooti yayisizza dda ekiragiro ekigaana Nakayenga okuteeka ekintu kyonna mu nkola nga yeeyambisa obuyinza obwamuweebwa okutuusa nga November 28 omulamuzi David Matovu lw’anaawa ekiragiro ekirala.

Mutabani w’omugenzi, David Eria Mulaliira naye atutte Nakayenga mu kkooti enkulu ng’agamba nti yalina emigabo gya bitundu 5 ku 100 mu kkampuni ya kitaawe e Ntinda era we yafiira ye yali omubalirizi w’ebitabo mu kkampuni ng’avunaanyizibwa ne ku bya ssente.

Agamba nti nga August 14, 2017 baamugoba mu ofiisi. Ono alumiriza Nakayenga ne baganda be bana (abaana ba Nakayenga) okuggala ofiisi mwe yali akolera nga kati tamanyi ngeri bizinensi gye zitambulamu. Bannamateeka batangaazizza Steven Ssali Ssenkeezi; Omusajja bw’awasa omukazi nga bayise wa ddiisi, mu mateeka obufumbo obwo bukkirizibwa era tasobola kuddamu kutwala mukazi mulala wa ddiisi oba mu kkanisa kugattibwa ng’obufumbo obwasooka kkooti tennabusazaamu.

Omukyala gw’ofunye oluvannyuma ne bw’omuzaalamu abaana 10 oyo mu mateeka aba mukwano gwo era ne bwe mugattibwa, satifikeeti eyo tetugibala. Daphine Atukwasa; Bw’oyingira mu bufumbo nga waliwo omukyala eyakusookamu ate nga wampeta, olina okuba omugezigezi kuba ne ku byobugagga by’omusajja bw’aba teyakulaamira ggwe ng’omuntu, tofunako kantu konna. Mu bufumbo, kkooti etunuulira bujulizi naddala satifikeeti y’embaga. Ggwe ne bw’oba nga baakuwasiza mu Amerika naye ng’omukyala eyasooka baamuwasiza Kyannamukaaka erang’obufumbo bwe tebusazibwangamu, obw’oyo gwe bawasizza mu kyalo bwe buba obutuufu.