Ebizuuse ku musuubuzi w'omu Kiyembe eyattiddwa

By Musasi wa Bukedde

Ebizuuse ku musuubuzi w'omu Kiyembe eyattiddwa

Lub2 350x210

EBIZUULIDDWA ku mugagga w’omu Kiyembe eyatemeddwatemeddwa abatemu abaamusanze mu maka ge ku kyalo Kaseenene-Nampunge mu ggombolola y’e Baamunaanika mu Luweero biraga nti abatemu babadde baagala ssente. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Luweero, Raymond Jjaggwe, yagambye nti waliwo ebintu omuli n’essimu ebyabbiddwa ku mugenzi era okunoonyereza kutandise okubawa obubonero ku bantu abakoze ettemu lino.

Ssentebe wa Kiyembe Village LC1, Habib Wasuru Rwamagana abadde akola n’omugenzi Esther Naiga Kapere yategeezezza nti ku Lwokusatu yasiibye mu maka g’omugenzi e Ziroobwe ng’agezaako okunoonyereza mu kyama ekyavuddeko omumyuka we okuttibwa kyokka ne kizuulibwa nti abatemu olwamaze okumutema ne batwala essimu ye nga kiteeberezebwa nti eno yabaddeko ssente ze baabadde baagala ezitamanyiddwa muwendo.

Agamba nti ensonga endala gye basuubira kyandiba ng’omutemu ono yabadde abapangisiddwa omu ku balabe ba Naiga atamanyiddwa era nga kisuubirwa nti n’ensimbi enkalu omugezi ze yabadde nazo abatemu baazitutte.

Ab'omu Kiyembe babadde baalonda Naiga okuvugannya ku bwassentebe bwa LC1 kyokka nga tannasalawo bulungi ng’olukiiko olubadde lusembaayo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno lubadde lwa kutuula ggulo ku Lwokuna.

Rwamagana agambye nti okuva mu myaka gya 1961, we yatandikira okulaba Naiga ng’asula mu Kiyembe era ne bwe yazimba amaka ge e Nsambya yasigala asula wano nga tasuubira nti okuttibwa kwe kulina engeri yonna gye kwekusa ku kusula mu loogi. Naiga yatandikira mu kukola na babbbulooka b’amayumba n’ettaka mu myaka gy’ekaaga, n’atandika ekirabo ky’emmere ku Market Street, nga bw’asuubula n’ebirime n’abitunda mu katale k’e Nakasero.

Oluvannyuma yatandika Loogi ya Upstairs nga kuliko ebbaala n’ekirabo ky'emmere. Muno mw’aggye ssente mwe yazimba ennyumba y’e Nsambya, amaka g’omu kyalo n’akola ne faamu. Omugenzi abadde yaakabeera n’abasajja basatu kyokka nga bonna yayawukana nabo wabula ng’ensonga ebadde emwawukanya n’abasajja bano temanyiddwa.

Bba gw’asembye okubeera naye, Edward Ssebuliba, alina amaka ge ku kyalo Kaseenene okumpi n'ag’omugenzi era nga waliwo abatuuze abategeezezza nti ababiri bano babadde baafunamu obutakkaanya ne baawukana. John Kiwanuka agamba nti Naiga bwe yali tannazimba Ziroobwe, Ssebuliba yajjanga nnyo mu Kiyembe kyokka olwamala okuzimba ono teyaddamu kulabika.

Naiga yatemuddwa ku Lwokubiri mu maka ge. Ono y’abadde nnannyini Upstairs,Guest House, Bar and Restaurant mu Kiyembe ne ku City House okuliraana ofiisi z'ekibiina kya DP.