Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome

By Henry Nsubuga

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome

Hab1 350x210

EBINTU bya bukadde bwa nsimbi bisirikkidde mu muliro ogwakutte ekizinga Kimmi mu ggombolola y'e Koome mu disitulikiti y'e Mukono.

Ennyumba ezisinga obungi zaayidde nga tekusigadde wadde akaduuka akamu. Yingini, obutimba obukozesebwa mu kuvuba n'ebirala byonna byayidde.

Wano tewasigadde kyakulya, okwebikka ate ng'abantu 2 be baafudde. Omu yayingidde ennyanja ng'ayaka omuliro n'agwa mu mazzi tannazuuka. Omubaka  Johnson Muyanja Ssenyonga ne  Rev. Peter Bakaluba Mukasa batuuse mu kitundu okulaba bwe badduukirira abantu.