Ebintu 10 omuyizi by’afuna mu kusoma obutabo

By Musasi wa Bukedde

OMUYIZI okuganyulwa mu kusoma n’asobola okweyimirizaawo n’okutetenkanya obulungi mu biseera eby’omu maaso alina okuba ng’anyumirwa okusoma obutabo.

Kitabo 350x210

Noolwensonga eno omukulu w’essomero lya Kitante Primary School, Jane Semugooma buli mwaka ategekayo wiiki y’okusoma obutabo era yabaddeyo wiiki ewedde ku ssomero nga batambulira ku mulamwa ogugamba “Reading culture for transformation” ekivvuunulwa nti empisa ey’okusoma obutabo olw’okuleetawo enkyukakyuka.

Bernard Egesa, omumyuka w’omukulu w’essomero era akulira ebyenjigiriza ku ssomero yagambye nti baalabawo eddibu mu bayizi obutamanya kusoma bwino ate nga kikosa ne bye basoma mu bibiina. Abayizi baali beetaaga okuzimba enkola y’okusoma bwino mu bo, eno y’ensonga enkulu n’okuyamba abayizi okukuza ebitone.

Akulira essomo ly’Olungereza ku ssomero, Sarah Bisuula ne Gertrude Mwanja baalaze omugaso gw’omuyizi okwekubiriza okusoma obutabo nga mulimu; Kiyamba abayizi okwanguyirwa okusoma ebitabo byabwe ate nga babitegeera bulungi.

Okusoma obutabo bw’engero kiyamba okubangula obwongo bw’omwana kubanga abeera abukozesa. Kiyamba okumalawo obukoowu.

Okugeza ayinza okuba nga’akooye omusomesa okusoma akatabo ne kimukkakkanya. Kiyamba okuyizi okwongera ku kumanya kwe.

Amanya ebintu bwe bikolebwa n’okumanya gye bisangibwa. Kiyamba omuyizi okwongera ku muwendo gw’ebigambo by’amanyi.

Omuyizi anyumirwa okusoma obutabo kimuyamba okuba omutetenkanya.

Omuyizi ayiga okwefumiitiriza ku bintu by’asoma ekimuyamba ng’akuze. Ayiga okuwandiika ng’asinziira ku butabo bw’asoma.

Bayiga empisa nga basinziira ku bugero bwe basomye. Kye kimu ku bimalawo ekiwubaalo n’okusanyusa omuntu.