Abakadde 45 beekubidde enduulu mu kakiiko akalwanirira obwenkanya

By Joseph Mutebi

Abakadde 45 beekubidde enduulu mu kakiiko akalwanirira obwenkanya

Nub1 350x210

EKIBINJA ky'abakadde 45,  abakiikiridde bannaabwe  okuva mu disitulikiti za Uganda ez’enjawulo baddukidde ku kakiiko akalwanirira obwenkanya aka “Equal Opportunity Commission” ne bawaawabira abakulira abakozi ku disitukikiti ez’enjawulo nga bwebabba ssente zaabwe nga baabateekako obukwakulizo obutali mu mateeka.

“Toyinza kukikkiriza nti  mu disitulikiti zaffe ezimu  abakulira abakozi tebakyagobeerera mateeka pulezdidenti Museveni mweyasinzira okutuwa ssente 25,000/-  buli mwezi eri buli muntu awezezza emyaka 65” Bwatyo Charles Matumbwe bwategeezezza.

Matumbwe ne banne  okwogera bino  babadde beesitudde ng’ekibinja ky’abakadde 45 okuva mu disitulikiti za Uganda ez’enjawulo nga baagala bafune obwenkanya okuba ba COA abakulira emirimu mu disitulikiti omu Kaliro, Namutumba, Kayunga, Mityana , Kyotera  n’enddala bagamba nti abasinga tebakyabawa ssente zino.

 

Mu kkooti ya kakiiko kano ekuliddwa ssentebe waako Sylvia Nantambi Muwebwa  abakadde bategeezezza nti ba COA ne basajja baabwe babawandiika amanya ne bagatwala ne bagyayo ssente zaabwe bwe batuuka okugaba nga bagamba nti balina kuwa bawezezza myaka 80 ng’ate etteeka  ligamba nti afuna ssente zino atandikira ku myaka 65 okugyako abo bokka abakadde abava mu disitulikiti y’e Kalamojja pulezidenti beyalagira batandikire ku myaka 60 olw’embeera embi gye bayitamu.

James Batumba mbeera Mityana wabula ssente ffe twazivaako dda,  ewaffe bawaako abo bokka abatono be bamanyi enddala ne bazeeriira ng’ate  ogenda okuwulira nti abamu ku bannamwe baafunye ssente bwe muli mu myaka egimu ate gwe ne bakubuuka ng’ate otekeddwa okufuna.

Kerewofansi Namatovu  okuva e Rakai. Abasajja baffe abamu baafa abalala abakyala baabwe nabo baafa wabula bamulekwa abatuufu abalina okuganyulwa mu ssente za gavumenti abafiirwa bakitaabwe tebafuna baziwa balala.

Ssentebe wa kakiiko kano Nantambi agambye nti ensonga za bakadde baziwulidde era batandikiddewo okuzinoonyerezaako balyoke bayite bekikwatako baddemu akaana n'akataano.