Rebecca Kadaga alabudde abazadde ku mikutu gya TV egy'onoona abaana

By Moses Lemisa

Rebecca Kadaga alabudde abazadde ku mikutu gya TV egy'onoona abaana

Reb1 350x210

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe ggwanga  alabudde abazadde ku mboozi ezitasaana ze banyumiza mu baana ssaako n’okubatangira emikutu gya ttiivi egiraga katuuni ow’obuseegu.

Rebecca Kadaga asinzidde ku ssomero lya All Saints Junior School Namataba Mukono ku Luguudo lwe Jinja ku mukolo gw’okusabira abayizi ba P7 ssaako n’okuggulawo ekimu ki bizimbe by’essomero lino.

Kadaga ategeezezza nti abazadde bangi tebafuddeeyo kufuga ku zimu ku mboozi ezitasaanya nga bazinyumiza mu maaso ng’abaana ekiviriddeko abaana okwonooneka ku myaka emito

Yayongeddeko nti  kyazuulwa nga waliwo Emikutu gya Ttiivi egiraga eby’obuseegu nga kino Palamenti yakikola n'eragira ekitongole kya UCC okuggyako emikutt egyo kuba abazadde abamu tebakimaanyi nti katuuni alagibwako aba wa buseegu.

Agasseeko n’asaba bannayuganda abalina obusobozi okussaawo amatendekero agenjawulo nga kino kijja kuyambako Uganda okutandika okukola ebintu byayo.


Okusabira abayizi kukulembeddwaamu  Musenyere Richard Kayondo owa Lugazi  Dio ng’ono ategeezezza nti abayizi 65 abagenda okutuula ebigezo nti yadde abasaabidde essaala  naye balina okukimanya nti bwe baba tebaasoma bitabo essaala terina we bayambira.

Asabye abazadde okufaayo okulung'amya abaana baabwe nga bazzeeyo mu luwummula kuba obudde obusinga  babumala ku ssomero n’abasomesa Ate Ye Godfrey Banana nnanyini ssomero lino  asabye abazadde okufaayo okulambula ng’abaana baabwe ku massomero nga kino kiyambako abaana okuddamu amaanyi.

Agambye nti waliwo abazadde nga ye olutwala omwana ku ssomero naddala ery'ekisulo addamu okumujjukira ng’oluwumula lutuuse nga kino kiviriddeko abamu ku bayizi okuggwamu amaanyi ne batandika okwekubagiza.

Steven Matovu omukulu we ssomero lino agambye nti essomero ly’akamalawo emyaka etaano ng’ebyenjigirizza mu kitundu kye Namataba kati bye yagaza .

Omukolo guno gwetabiddwako abantu bangi okubadde Eng Kafeero Ssekitoleko  omubaka  wa Nakifuma ng’ono ategeezezza nti Namataba omwaka ogujja egenda kufulibwa Town Council  kiyambe abatuuze okufuna ebyetaagisa mu bujjuvu okuli okubakolera enguudo n’ebirala