‘Poliisi yankuba amasasi kati nvunze okugulu’

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

‘Poliisi yankuba amasasi kati nvunze okugulu’

Yeb3 350x210

OMUVUBUKA abaserikale ba poliisi gwe baakuba amasasi mu magulu atandise okuvundira ku kitanda.

Ivan Bogere 32, ow’e Makindye ng’abadde akola bwabbulooka mu katale ka St. Balikuddembe, abaserikale baamukuba amasasi bwe baamwekengera ne bamuyimiriza kyokka n’asalawo okudduka.

Okukubwa amasasi, waliwo mukwano gwe eyamukubira essimu n’abaako ebyuma by’amusaba nga bino abaserikale baategeeza nti yali agenda kubyeyambisa kumenya mayumba g’abantu. Bogere eyasangiddwa wabweru wa waadi ejjanjaba abamenyese amagumba, yategeezezza nti abasawo olwazudde nti avaamu ekivundu n’ebiwuka, baamututte mu ssweeta alongoosebwe.

Yagambye nti, abaamukuba baaliko ekisaakaate ky’omugagga omu kye bakuuma. Agamba nti baamuyimiriza n’agaana ng’alowooza babbi kyokka ne bamukuba amasasi. Ayongerako nti nga bamaze okumukuba amasasi, baamuggyako ensawo gye yali aweese ne bagyekebejja era bwe baasangamu ebyuma, omuserikale omu kwe kwongera n’amukuba amasasi mu kugulu okulala ng’ali ku ttaka.

Agamba nti abaserikale bano baali bambadde ebijaketi ebibikka yunifoomu zaabwe era teyasobola kwetegereza mannya gaabwe.

Abaserikale bano oluvannyuma baakubira bakama baabwe ne babategeeza nga bwe bagudde ku kibinja ky’ababbi ne bakubako omu amasasi, abalala ne badduka. Poliisi ye yamutwala mu ddwaaliro e Mulago gy’amaze wiiki bbiri ng’ajjanjabwa mu waadi y’amabenyese. Bogere awanjagidde abazirakisa okumudduukirira n’obuyambi bwonna asobole okufuna obujjanjabi obulungi. Ali ku ssimu 0751611178.