Museveni asuubizza okusonyiwa bayinvesita Abawarabu omusolo

By Muwanga Kakooza

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye banaggagga Abawarabu n’abazungu n’abaperereza okujja mu Uganda okutandikawo emirimu ng’agamba nti gavumenti ejja kubasonyiwa emisolo kuba bagenda kuyamba mu kutondawo emirimu.

Kagu 350x210

Museveni yabadde ayogera eri abasuubuzi abazze mu lukung’ana lw’ensi yonna olukwata ku by’obusuubuzi mu Africa olwa ‘’4th Global Business Forum on Africa’ oluyindira mu kibuga Dubai , okusinziira ku mawulire agafulumiziddwa amaka g’obwa Pulezidenti.

Olukung’aana luyindira Dubai mu UAE .

Tulina abantu abasoba mu bukadde 40 abasobola okugula ebyamaguzi byammwe era n’akatale kasobola okugaziwa ne kazingiramu amawanga ag’omulirwano,’’ Museveni bwe yagambye abasuubuzi ku Ritz Hotel mu kibuga Dubai.

Museveni yagambye nti Uganda erimu emirembe, enguudo, amasannyalaze, enguudo z’eggaali y’omukka  byonna ebisobola okuyamba okultandikawo amakolero.

Yagambye nti abasuubuzi bajja kuweebwa embeera ebasobozesa okukola emirimu omuli n’okusonyiyibwa omusolo.

‘’Nze bayinvesita saagala kubatikka misolo. Kasita mukozesa ebintu byaffe ng’ebyobulimi, obulunzi n’ebirala mu makolero gammwe ne mutuwa n’emirimu n’okuyamba eggwanga okufuna bye litunda ebweru nga mumaze,’’ Museveni bwe yagambye.

Museveni yawerekeddwako Minisita w’ebyamasanyalaze Irene Muloni, ow’ebyobulambuzi Ephrahim Kamuntu, ow’okusikiriza bannamakolero okutandika wano emirimu Evelyne Anite ne ambasada Nimishi Madvani.