Mugabe agaanyi okusoma ekiwandiiko ekirekulira

By Musasi wa Bukedde

Mugabe olwalabye omutwe gw’ekiwandiiko nga gwogera “KULEKULIRA” yagaanyi wadde okuddamu okutunula ku kiwandiiko ekyo n’asitukawo addeyo mu kisenge, kyokka Gen. Chiwenga n’amwesimba mu maaso nga bw’amugamba nti “Comrade Mugabe kino kirina okuggwa olwaleero era kati era wano kubanga kiyamba ggwe n’eggwanga lyaffe lyonna”.

Mugabe1 350x210

HARARE, Zimbabwe

OKUVA amagye lwe gaasazeeko amaka ga Mugabe, ensiitaano eyaddiridde ya kumukkirizisa akole abajaasi bye baagala.

Olwokuna lwonna, amagye gaalumazeeko nga gakyali mu kuyiiya ekiddako oluvannyuma lwa Pulezidenti Robert Gabriel Mugabe 93, okugaana okusoma ekiwandiiko kye baabaadde bamutegekedde ng’alangirira nti alekulidde.

Omuduumizi w’amagye, Gen. Constantino Guveya Chiwenga eyakulidde okuwamba, ne ba Genero abalala okuli omuduumizi w’eggye ery’oku ttaka Gen. Phillip Valerio Sibanda n’omuduumizi w’eggye ery’omu bbanga Air Marshal, Perrance Shiri beesitudde ne bagenda okusisinkana Mugabe mu maka ag’Obwapulezidenti agayitibwa ‘Blue Roof’.

Bwe batuuse mu ‘Blue Roof’ mu kitundu eky’e Borrowadale Brook, ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ku Lwokusatu ba Genero baagenze butereevu mu kisenge bya Mugabe gye baamusanze ng’atudde ku buliri.

Omu ku bajaasi mu ggye eryawambye erya Zimbabwe Defence Forces (ZDF) yategeezezza munnamawulire w’olupapula lw’amawulire e Zimbabwe oluyitibwa Chronicle nti Mugabe akyabasobedde kubanga tebaagala kumutuusaako buzibu bwonna, wabula abaanukula n’ekkabyo ng’alinga alowooza nti akyalina obuyinza.

Yagasseeko nti essaawa nnyingi azimala yeebase, era ne bwe bamugolokosa yeefuula atawulira n’abulizaako.

ENGERI MUGABE GYE YAKAMBUWALIDDE ABAAMUWAMBYE

Mu kugenda mu kisenge, Mugabe baamusanze ali mu birowoozo wabula bwe yalabye bayingidde ne yeekung’aanya n’adda ku buliri waggulu ne yeefuula abadde yeebase. Baamulemeddeko ne bamulagira atuule boogere era wakati mu kwekaka n’akkiriza babeeko bye boogera.

Nga tebannatuuka mu kisenge, nti baasoose kumuyita mu ddiiro eddene kyokka n’agaanira mu kisenge, abajaasi kwe kumulumbayo.

Nga bakyali mu ddiiro, yasoose kubaboggolera ng’ababuuza kye bamwagaza. Yabalagidde bave mu maka ge bagende kubanga talina ky’abeetaaza era kino ky’ekyabatanudde ne bagenda mu kisenge bamuggyeyo.

Gen. Chiwenga bwe yalabye nga “Uncle Bob” (erinnya lye batera okumuyita) yeefudde wa ggume kwe kumugamba nti ensonga gye baliko nkulu ssi ya kusaaga ne Gen.

Sibanda n’ajjuuliriza nti ensonga ebasitudde bonsatule ekwata ku ggwanga n’olwekyo alina okubawuliriza oba ayagala oba tayagala. Baamuwadde amagezi nti abeere mukkakkamu ng’ayogera nabo kubanga mu kiseera kino y’asinga okufuna mu kwogeraganya okusinga amagye.

Baabadde boogerera kumukumu, olwo Mugabe kwe kubagamba nti eby’okumuleekaanira bakimanyi tabyagala era nti bwe babeera tebasobola kwogera omu kw’omu, bamuviira kubanga teyeewulira bulungi.

Ekyaddiridde kaabadde kasiriikiriwo, Mugabe n’abasaba bafulume, abasange mu ddiiro n’agattako nti ate ne mu ddiiro, ajja kulaba omu kw’omu sso ssi kibinja ky’abantu.

 enero hiwenga ngali ne ugabe gye buvuddeko Genero Chiwenga ng’ali ne Mugabe gye buvuddeko.

 

Omukutu gw’amawulire ogwa Newsday gwategeezezza nti nga waayise ekiseera kumpi kya ssaawa nga nnamba nga Mugabe abategeeza nti yeetereeza ajja era bwe yavudde mu kisenge n’ayogera ne Gen. Chiwenge okumala eddakiika nga 30 era wo we yamuweeredde ekiwandiiko ekyabadde kibagiddwa nga Mugabe yabadde waakukisoma ku ttivi y’eggwanga Zimbabwe Broadcasting Cooperation (ZBC) ng’alekulira .

Mugabe olwalabye omutwe gw’ekiwandiiko nga gwogera “KULEKULIRA” yagaanyi wadde okuddamu okutunula ku kiwandiiko ekyo n’asitukawo addeyo mu kisenge, kyokka Gen. Chiwenga n’amwesimba mu maaso nga bw’amugamba nti “Comrade Mugabe kino kirina okuggwa olwaleero era kati era wano kubanga kiyamba ggwe n’eggwanga lyaffe lyonna”.

Mugabe yagaanyi okuddamu okuvaamu ekigambo n’asirika busirisi ebbanga lyonna eryazzeeko ne ba Genero abalala ne bwe beegasse ku Chiwenga era Mugabe yeeremye.

Baavuddewo ne basalawo okusooka okumusindikira abamu ku bakulembeze abassibwamu ennyo ekitiibwa mu kibiina kya ZANU PF era ku Lwokuna abamu baalabiddwaako nga bagenda mu maka ga Mugabe okwongera okumuperereza.

Enteekateeka zaabadde zikoleddwa Mugabe okusoma ekiwandiiko ng’alekulira n’oluvannyuma Emmerson Dambudzo Mnangagwa 75, gwe yabadde yafuumudde mu kifo eky’omumyuka asooka owa Pulezidenti ku Mmande ewedde alangirirwe nga Pulezidenti ow’ekiseera ng’olulonda kwa 2018 okubadde kwetegekerwa, bwe kutuuka.

Amagye gaabadde gaagala enkyukakyuka zitambuzibwe mu mirembe nga beewala amawanga amalala okubalaba ng’abaawambye obuyinza; kyokka abamu ku ba Genero mu magye balina endowooza nti Mugabe bw’anaagenda mu maaso n’okweyisa mu ngeri ey’okusaaga, baakusalawo kye balowooza ekinaabatwala mu maaso era bakirangirire.

Balowooza nti emyaka Mugabe gy’alimu gy’egimuleetera okweyisa mu ngeri gye yeeyisizzaamu; ensonga ez’amaanyi n’azitunuulira ng’ez’olusaago.

AMAGYE GANOONYA MUKA MUGABE

Omukutu gw’amawulire ogwa Bulawayo24 gwategeezezza nti oluvannyuma lwa Mugabe okugaana amagye kye gaabadde gapanze, kati ba Genero bazzeeyo ku mmeeza okupanga obupya.

Pulaani eyabadde ekoleddwa Mugabe okulekulira ku lukwe yabadde ekkaanyiziddwa mu kakiiko k’amagye ak’oku ntikko.

Kyokka Mugabe okuwalira kikyusizza pulaani nga kati ba Genero basazeewo okunoonya Grace Mugabe mukazi wa Mugabe, agambibwa nti ali Namibia.

Abajaasi baabadde bafunye ne lipoota okuva mu kimu ku bitongole ebikessi ng’eraga nti Grace yandiba nga tali Namibia nga bwe kyasaasaanye wabula ng’akyali munda mu ggwanga era baasazeewo kino bongere okukinoonyerezaako bazuule oba kirimu obutuufu.

Ba Genero mu lukiiko lwabwe baagambye nti singa bafuna Grace Mugabe ne bamutwala ewa bba, bajja kumweyambisa ng’akamasu okumukkirizisa okusoma ekiwandiiko ky’okulekulira kubanga omukazi ye ateekwa okuba ng’amanyi ebigenda mu maaso kye bitegeeza eri obulamu bwabwe.

Kyasaliddwaawo nti Mugabe bw’akkiriza okusoma ekiwandiiko, bagenda kumuwa obukakafu okumulabirira ebbanga lyonna okutuusa okufa n’obutamuggulako misango oba okumuyigganya n’aba famire ye.

Wabula waliwo ba Genero abatakkaanya na kya kukozesa mukazi nga bagamba nti wa bulabe nnyo ateetaaga kweriraanya.

MUSAJJA WA MUGABE EYAKWATIDDWA AYASIZZA EBYAMA

Wadde embeera yabadde nzikakkamu ku Lwokuna mu bibuga byonna naddala nga ne Harare mw’ogitwalidde, amagye gaabadde gakyakwata basajja ba Mugabe naddala ababadde bakolagana ennyo ne Grace Mugabe.

Abamu ku baasoose okukwatibwa baagonze era ne beetonda.

Abadde akulira abavubuka mu kibiina kya ZANU PF ekiri mu buyinza, Kudzanai Chipanga eyakwatiddwa amagye ku Lwokusatu yeetondedde omuduumizi w’amagye Gen. Chiwenga ne ba genero abalala be yayisaamu amaaso ku Mmande.

Chipanga y’omu ku basajja ba Mugabe abaagonze ne bawaayo okwetonda kwabwe eri amagye era nga bakutadde mu buwandiike.

Abamu ku Baminisita ababadde balasana n’ebigambo ebivvoola amagye n’okunafuya Mnangagwa nabo baataddeyo okwetonda kwabwe n’obweyamu okukolera awamu n’amagye okutwala Zimbabwe mu maaso awatali kuleetawo kajagalalo konna.

Chipanga yasinzidde ku ttivi y’eggwanga (ZBC) ne yeetondera ba Genero nti waliwo abaamuwa ekiwandiiko kye yasoma ku Mmande ku kitebe kya ZANU PF ng’avuma ba genero abo n’abasaba ekisonyiwo kubanga akyali muvubuka muto akyetaaga okuwabulwa aleme kukola nsobi mu bulamu.

Yagambye nti ekiwandiiko kye yasoma ekyali kijjudde ebivumo kyamuweebwa Rodney Dangarembizi eyaliwandiika ng’ali ne Grace Mugabe.

Mu kwetondera ba genero, Chipanga yayasizza ebyama ku nteekateeka za muka Mugabe n’akabinja ke aka G40 nga bwe babadde bateekateeka okutemula n’okukola effujjo ku bantu bonna abatawagira muka Mugabe okulondebwa mu kifo eky’omumyuka wa Puledenti ekyabadde kigobeddwamu Mnangagwa.

Yagambye nti amanyi n’abaali ku lukwe olwali lukoleddwa okutta Mnangwagwa mu August 2017 nga bakozesa obutwa kyokka n’asimattuka bwe baamutwala e South Afrika mu bwangu n’ajjanjabibwa.