Olukiiko lwa Busoga lukkiriza Gabula afuge okutuusa lw'alifa

By Musasi wa Bukedde

E Busoga bali mu ssanyu oluvannyuma lw’olukiiko lwa Busoga okwanja n’okuyisa ekiteeso ky’ennongoosereza mu ssemateeka wa Busoga eyawadde Kyabazinga, William Wilberforce Kadhumbula Nadiope 1V ebbeetu okutuula ku Nnamulondo okutuusa lw’alifa.

Gabulaoyee 350x210

BYA TOM GWEBAYANGA

Kino kiba kitegeeza nti okulonda  Kyabazinga omuggya okubadde kusuubirwa okubeerawo mu 2019 si kwakubaawo , abangi kye bagambye nti kirungi era kitaassizza Busoga ku mirerembe  n’entalo ebyalibuutikidde okulonda.

Bino byatuukiddwako ku kitebe ky’Obwakyabazinga ku Lwokutaano mu lukiiko olwabadde olwamangu, omubaka wa Butembe, Mathias Mutatyama bwe yayanjizza ekiteeso kino era n’asaba banne bamusembe,nabo kye baakoze awatali kuwannaanya era ne kiyitamu.

Ekyaddiridde nduula kusaanikira ekitebe wakati mu kusaakanya, okuyimba ennyimba eziwaana Gabula n’abamu okutyabula amazina n’okuwera nti, ’Kiweire, Gabula , ekisegese ekitaliibwa nsolo afunvughe (awangaale) n’ebirala eby'Olulimi Olusoga.

AB’AMASAZA 9 KU 11 B’ASSIZAAKO OMUKONO

Kino yakireese butereevu ng’asinziirira ku kiwandiiko ab’Amasaza 9 kw’abo 11 abalonda Kyabazinga kye baamuweerezza nga kisaba olukiiko lukkirize akawaayiro nnamba 6 ne 8 mu ssemateeka  wa Busoga bukyusibwemu, nga Kyabazinga alina ebbeetu okutuula ku Nnamulondo nga tazzeemu kukubwako kalulu okutuusa lw’alifa.

Kino baakikoze okukyusa mu kawaayiro  ka baali bateseewo nga Kyabazinga afugira emyaka etaano, okusobola okuwa amasaza 5  (Luuka, Bugabula, Bukholi, Busiki ne Bulamogi) agavaamu Kyabazinga nago okufugako.

Wabula ebyafaayo bya Busoga biraga nti Bugabula ne Bulamogi  ge gagenze gawaanyisiganyizza Obwakyabazinga kati emyaka 80.

Kino kyalese Omulangira Edward Colombus Wambuzi (Bulamogi), abadde alindiridde okulonda kwa 2019 akwasibwe enkasi ng'ekisanja kya Gabula kiweddeko.