Abantu 1,000 abeesenza ku ttaka ly'ekibira e Ssembabule bagobeddwa

By Musasi wa Bukedde

Abatuuze abasoba mu 1,000 mu ggombolola y’e Ntuusi ne Lwemiyaga mu disitulikiti y’e Ssembabule basattira oluvannyuma lwa Gavumenti okubalaalika nga bw’egenda okubagoba ku ttaka ly’ebibira kwe beesenza Kigambibwa nti mu myaka 20, egiyise abantu beesenza ku ttaka ly’ekibira nga waliwo n’abaafuna ebyapa.

Bapa 350x210

BYA MARIA NAKYEYUNE

Disitulikiti y’e Ssembabule ng’ekulembeddwa omubaka wa Pulezidenti, Henry Baguma bamaze ebbanga nga basisinkana abali ku ttaka lino nga babalabula okulivaako kyokka ne bagaana.

Kigambibwa nti bannabyabufuzi be babadde babagumya nga bwe batayinza kubagoba ku ttaka lino ng’abamu bazimbyeko amayumba ag’ebbeeyi n’amaduuka mu kabuga k’e Lumegere.

Ku ttaka lino kuliko amayumba g’abatuuze agawerako okuli n’amaka galikwoleka aga munnamagye eyawummula Lt. Tom Asiimwe, ffaamu n’ennimiiro.

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno, abakungu okuva mu kitongole ky’ebibira nga bali ne Baguma baagenze mu kifo kino n’ebiwandiiko ebigoba aabaliku ttaka lino.

Stephen Bagonza nga y’akwasisa amateeka mu kitongole kino yabawadde ennaku 21 nga bavudde ku ttaka lino n’abalabula nti anaajeemera ekiragiro kino bagenda kumutwala mu kkooti avunaanibwe okusaanyawo ebibira.

Abatuuze abamu baatadde emikono ku kiwandiiko ekibagoba ku ttaka kyokka abalala ne bagaana nga bagamba nti baagala babaweeyo akaseera basobole okuggyako ebintu byabwe. Kyokka abamu bakulaba ng’okubanyigiriza.