Buli muntu kimukakatako okugula satifikeeti - Mayiga

By Dickson Kulumba

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasinzidde ku mukolo gw’okuggalawo ‘Luwalo Lwaffe 2017’ e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri n’ategeeza nti kikakata ku buli muntu wa Buganda okugula satifikeeti n’okuwaayo kyonna kyalina okutambuza emirimu gy’Obwakabaka.

Olusirika5 350x210

ENSIMBI obukadde 203 ze zikung'aanyiziddwa amaggombolola mu Buganda mu nkola ya ‘Luwalo lwaffe 2017’ ng’abatuuze b’eggombolola y’e Makindye mu Kampala be basinze n’ensimbi 17,465,000/-. Ate essaza ly’e Kyadondo lye lisinze amalala n’ensimbi 54,806,000/-.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasinzidde ku mukolo gw’okuggalawo ‘Luwalo Lwaffe 2017’ e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri n’ategeeza nti kikakata ku buli muntu wa Buganda okugula satifikeeti n’okuwaayo kyonna kyalina okutambuza emirimu gy’Obwakabaka.

Yasabye okukomya enjogera egamba nti ‘Ab’e Mmengo’ kubanga tewali muntu gwe baazaalira Mmengo. “Kino ekikolebwa ekya Luwalo lwaffe kyongera ebigimusa mu nkulaakulana y’Obwakabaka era mbakubiriza ensimbi ze tufunye omwaka guno okulaba nga tuzikubisaamu emirundi ebiri omwaka ogujja kuba ensimbi obukadde 203 nnyingi okukuhhaanya kyokka ku ddaala ly’Obwakabaka ntono nnyo,” Mayiga bwe yategeezezza oluvannyuma n’atongoza enkola ya ‘Akabbo k’Oluwalo 2018.’

Obukadde 12 ze zaaleeteddwa amagombolola okuli Mumyuka Nakawa (obukadde butaano), Ssabagabo Lufuka (obukadde mukaaga), nga gano g’e Kyaddondo, ab’e Ddwaniro- Ssingo baleese 400,000/-, ab’e Ssisa- Busiro baleese 870,000/- ate ab’e Kayonza- Bugerere 300,000/-.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ezeebitundu, Joseph Kawuki yategeezezza nti omwaka ogujja minisitule eno, essira egenda kulissa ku kulambula abantu ba Kabaka nga Minisita waakulambula amasaza gonna ng’atandikira Buweekula nga January 9, 2018.

Abaami b’amasaza nabo balina okulambula amagombolola, abaamagombolola balambule emiruka n’abakulembeze abalala abaddako wansi balambule ebitundu bye batwala okutuukira ddala mu maka.

“Eggombolola y’e Makindye yaddiriddwa Ssabawaali Gombe- Kyaddondo n’ensimbi 10,571,000/-, Mutuba I Nangabo- Kyaddondo 8,240,000/- ate mu masaza Kyaddondo eddiriddwa Buddu ne 33,728,000/- ne Busiro 21,673,000/- nga tulabyewo okulinnya okuva ku nsimbi 137,934,400/- okutuuka ku bukadde 203.

Bukya nkola eno etandikibwa mu 2015, yaakavaamu ensimbi 692,562,000/- noolwekyo twebaza nnyo abakulembeze n’abantu ba Kabaka bonna,” Kawuki bwe yagambye.

Akulira ekitongole kya Majestic Brands ekikwanaganya enkola eno, Ronald Kawaddwa yategeezezza nti omwaka ogujja wateereddwaawo ebirabo ebigenda okuweebwa eggombolola, Omwami w’eggombolola n’omuntu ssekinoomu abanaasinga okujjumbira abantu enkola eno.

Mu ngeri y’emu ab’e Kyegonza- Gomba baaleese e Mmengo amakula omwabadde ente, amatooke n’ebirala.