Ababaka ba 'Togikwatako' batuula bufoofofo

By Kizito Musoke

Ababaka ba 'Togikwatako' n’abakkiriza okukyusa Konsitityusoni bonna beebugira lwa Mmande n’okuwera nti kiggwa kw’olwo.

Dku4nwzxcaaital900600 350x210

Sipiika yalangiridde nti ku Mmande lwe bagenda okufuna lipooti ebbiri ezaavudde mu kakiiko k'amateeka.

Emu esemba okuggya ekkomo ku myaka endala ekiwakanya.

Robinah Nabbanja (Kakumiro) yagambye nti olwa Mmande alwesunga nga mbaga, kuba waliwo abantu abaludde nga beewera nga bwe bayinza okubalemesa okugikwatako.

Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya) yagambye nti abantu batuuse okulaba ekyafaayo ng’omuntu aswala.

Yagambye nti kye yeekakasa ababaka abaagala okukyusa Konsitityusoni tebawera 290 omuwendo ogw'essalira.

Yategeezezza nti wadde awulira abagamba nti mulimu ababaka abaafunye ssente, kyokka tebayinza kuwera kuba mulimu abaazifunye kyokka ne balemerako nti balina okukola abalonzi kye baabagamba.

Ruth Nankabirwa, nampala wa Gavumenti yasambazze ehhambo ezibungeesebwa nti waliwo ababaka abaaweereddwa ssente okuyisaawo eky’okuggya ekkomo ku myaka.

Yagambye nti ssente zokka z’amanyi ezaaweebwa ababaka zaali obukadde 29 ezaabaweebwa okwebuuza ku balonzi.