Ndejje yeddizza ekya Yunivaasite

By Musasi wa Bukedde

Ndejje yeddizza ekya Yunivaasite

Nde1 350x210

Bya Amanda Namayo

NDEJJE University yeedizza obwa nantameggwa bw'e emizannyo gya yunivaasite  egyakomenkerezeddwa  e Luwero ku Main Campus.

Yunivaasite eno ekukumbye emidaali gya zzaabu 13 okusoboola okumegga yunivaasite endala 16 ezibadde zeetabye mu mizannyo 17 egy'enjawulo.

UCU yakutte ky'akubiri n'emidaali gya zzaabu 3 n'edirirwa Makerere mu ky'okusatu  ne zzaabu 2 mu mizanyno egimaze ennaku ettaano nga gibubujjira e Luwero.

Ndejje yawangudde abasajja n'abakazi mu karate, Woodball, emisinde, darts, taekwondo, Handball (abasajja), beach handball (Abasajja).

Guno gwe mulundi ogw'okuna ogw'omudiringanwa okuva 2011 nga Ndejje esituukira ku bwa kyampyoni bwe mizaanyo gino.

Mu fayinolo gizannyiddwa leero:

Handball (Abasajja)

Ndejje 33 KU 22

Handball (Abakazi)

Nkumba 17   Ndejje 12

Volleyball (Abasajja)

UCU 3 Ndejje 1

Volleyball (Abakazi)

Nkumba 3 Ndejje 1

Basketball (Abasajja)

Ndejje    46       KIU 40

Netball

KU 34   Nkumba 32

Omupira (Abasajja)

MUBS 3 Ndejje 0