Dr Kiiza Besigye avuddeyo ku babaka abaawagidde okugikwatako

By Scovia Babirye

Dr Kiiza Besigye avuddeyo ku babaka abaawagidde okugikwatako

Tub1 350x210

COL .Dr Kiiza Besigye ategeezezza nga bw'agenda okukola kakuyege mu konsitituwensi  z’ababaka abawagidde okukyusa akawaayiro 102 b ng’akunga abantu okubaggyamu obwesige.

Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire ku wofiisi za FDC ku Katonga road bw'abadde asisinkanye abakulembeze b’ebibiina ebivuganya Gavumenti okubadde JEEMA,CP FDC  n’ebirala.

Besigye ategeezezza nti omwaka 2017 gubadde mwaka mubi nnyo ku bannayuganda kuba gubaddemu ebizibu bingi omuli ekibba ttaka,ekitta bakazi,okwekalakaasa kw’abasawo ne bannamateeka,obuswavu Uganda bweyafuna mu America olw’obubbi kwogatta n’ekizibu ekisinze byonna eky’okukyusa ssemateeka.

Agambye nti obulumbaganyi bwonna obukoleddwa ku Ssemateeka buli eyenyigiddemu bijja mulakira ng’ekiseera kituuse

Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire ku wofiisi za FDC ku Katonga road bwabadde asisinkanye abakulembeze b’ebibiina ebivuganya Gavumenti okubadde JEEMA,CP FDC  n’ebirala.

Besigye ategeezezza nti omwaka 2017 gubadde mwaka mubi nnyo ku bannayugandakuba gubaddemu ebizibu bingi omuli ekibba ttaka,ekitta bakazi,okwekalakaasa kw’abasawo ne bannamateeka,obuswavu Uganda bweyafuna mu America olw’obubbi kwogatta n’ekizibu ekisinze byonna eky’okukyusa ssemateeka.

Agambye nti obulumbaganyi bwonna obukoleddwa ku Ssemateeka buli eyenyigiddemu bijja mulakira ng’ekiseera kituusea era buli mubaka eyenyigiddemu  tasuubira kuddamu kufuna bwesige okuva mu  balonzi be .

‘’Ssemateeka abadde atambulira ku magulu abiri okuli (term limit ne age limit) ebyo kebyakwatiddwako kati ssemateeka kiwowongole naye nga Museveni,Kadaga n’ebabaka bebasaale kyokka ne berabira ebiragiro by’abalonzi baabwe’’.Besigye bwagambye.

Ono akowodde bannayuganda bonna okumwegattako nga 9/January/2018 mu kaweefube w’okuja obwesige mu babaka bonna abakkiriza okukyusa ssemateeka