Abajaasi babavunaana kusomola byama

By Joseph Makumbi

AKAKIIKO akakwasisa empisa mu kitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) kaggalidde abajaasi mukaaga abaasomodde ebyama by’amagye ne babisaasaanya ku mikutu gya yintanenti.

Wata 350x210

Abajaasi abaakwatiddwa ne basimbibwa mu kakiiko akakwasisa empisa akakulirwa Col. Tom Kabuye, bali ku ddaala lya Captain ne Lieutenant.

Nnamba RO/09949 Capt. Emmanuel Kyamwiru owa (SFC), RO/10210 Capt. Shemu Nakora ow’ettendekero ly’abajaasi e Kalama, RO/12825 Lt. Wilson Kahamba, RO/12080 Lt. Ronald Watwaluma, RO/13552 2 Lt. Ronald Kabagambe ne RO/13560 2 Lt. Michael Asiimwe abakolera ku Oliver Tambo Leadership School e Kaweweta be baavunaaniddwa.

Baavunaaniddwa omusango gw’okuvvoola enneeyisa n’okukola ebintu ebikontana n’akawaayiro nnamba 178 ak’etteeka lya UPDF nnamba musanvu erya 2005.

Bwe yabadde asoma omusango oguvunaanibwa abajaasi bano, omuwaabi w’akakiiko Lt. John Emmanuel Alihihi yategeezezza nti, wakati wa November 19 ne 23, 2017 nga bakozesa emikutu gya yintanenti, baakoppa ne basaasaanya ebyama ebyekusifu ebimanyiddwa nga ‘General Administrative Order’ (GAO) kkopi eya 36.

Yagasseeko nti, tebaakoma ku kubikoppa, baabisaasaanya ne ku mikutu gya yintanenti emirala.

Omuwaabi w’akakiiko yategeezezza nti, ebyama ebyekusifu ebyasaasaanyizibwa byalimu amannya g’abantu abaali bakuziddwa amadaala n’ebiragiro by’emirimu gyabwe nga tebafunye lukusa.

N’agamba nti, omwogezi wa UPDF yalina olukusa okukola ekyo nga naye aweereddwa ebiragiro okuva mu bakama be.

Ssentebe w’akakiiko Col. Kabuye yategeezezza abavunaanibwa nti, ekibonerezo ekisinga obunene ku muntu azzizza omusango guno kuba kusibwa emyaka ebiri n’oluvannyuma n’agobwa mu magye.

Kabuye yalagidde basibwe emyezi ebiri mu bbaalakisi y’amagye e Makindye oluvannyuma lw’okukkiriza nti omusango ogubavunaanibwa gwabasinga ne basaba ekisonyiwo nga bagamba nti baakikola mu butamanya n’okucamuukirira olw’okumanya nti mikwano gyabwe gyali gikuziddwa mu magye.

Abasibe baaweereddwa amagezi bwe baba tebamatidde na kibonerezo kyabaweereddwa okuwandiikira kkooti y’amagye etuula e Makindye etwala n’akakiiko akakwasisa empisa mu CMI n’ennaku14 tezinnaba kuyitawo.