Omwaka guno gubadde muzibu mu byenfuna - Kabaka

By Dickson Kulumba

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obukozi n’obugumiikiriza bw’abakozi b’ebitongole by’Obwakabaka wadde ng’omwaka guno gubadde muzibu mu byenfuna.

Yisa 350x210

Byabadde mu bubaka bwe ku Bulange - Mmengo ku Lwokutaano ku mukolo gw’ennyimba z’Amazaalibwa ga Kristo nga kkwaaya okuva mu ssaza Ekkulu erya Kampala ze zaayimbidde Kabaka nga wabaddewo n’okusaba okw’enjawulo okwakulembeddwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

“ Mu bitongole byaffe mubaddemu okusoomoozebwa okutali kumu naye abakozi baffe tubeebaza olw’obukozi n’okwagala mu ngeri y’okuvvuunuka okusoomooza okwo.

Mu bitongole bino ebitali bimu wabaddeyo obutetenkanya n’obuyiiya era obuwanguzi obumu butuukiddwako.... Buganda Land Board ekoze bulungi ku KYAPA MU NGALO, Muteesa I Royal University eyali yaggalwa kati yaggulwa, Majestic Brands ekuze era ebyo ebituukiddwaako,bigenda kunywezebwa mu 2018,” Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yatuusizza obubaka eri abakozi ku lwa Kabaka eyazze ne Nnaabagereka ku mukolo guno.

Ssaabasumba Dr. Kizito Lwanga yasabye enkolagana wakati wa Gavumenti eyawakati n’obukulembeze bw’ennono enywezebwe nga kino yakiggye ku kubeerawo kw’omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi eyabadde ku mukolo guno era ne yeebaza Kabaka olw’okulafuubanira abantu be okubeera mu mbeera ennungi.

Yasabidde Obwakabaka n’eggwanga okuyita mu nnaku enkulu obulungi. Omukolo guno gwetabiddwako ababaka ba Palamenti okuli Muyanja Ssenyonga ne Sarah Temulanda, Dayirekita wa KCCA, Jennifer Musisi Ssemakula, Baminisita ba Kabaka, Namasole Siwoza, Nnaalinya Lubuga, Omulangira David Wasajja ne mukyala we, Omulangira David Golooba, Bannaalinya, Rev. Fr. Paul Mutaasa Viika w’Abasodokisi mu ggwanga n’abalala.