Baabano abantu 100 abeetisse omwaka 2017

By Musasi wa Bukedde

Baabano abantu 100 abeetisse omwaka 2017

Mwaka 350x210

BAABANO bassereebu abalondeddwa okunywa mu bannaabwe akendo omwaka guno. Waliwo abalina bye bakoze n’amawulire ne gaboogerako nnyo kyokka nga tebateereddwa ku lukalala luno wadde ng’abantu baabalonze.

Mu bano mulimu Kabaka, Pulezidenti Museveni awamu ne famire zaabwe. Waliwo bassereebu abaafa kyokka nga be basinze okukola amawulire era be bamu ku baasinze okulondebwa naye ng’ate tekyandibadde kya buvunaanyizibwa kubakubako kalulu era bano bassiddwa mu kiti kyabwe.

Mu bano mulimu: Ivan Ssemwanga, Andrew Felix Kaweesi, Lawrence Mukiibi ne Dans Kumapeesa. Ennonda yabadde etya: Abasasi baatambula okumala ebbanga nga babuuza abantu omu ku omu.

Ekibuuzo kyali kimu, ssereebu ki akusingidde okukola ebirungi oba ebibi omwaka guno? Mu ngeri endala, ani asinze okumusanyusa n’okumunyiiza n’ani oyo asinze okwogerwako omwaka guno.

Engeri endala ebadde ya kukozesa mikutu gya Vision Group omuli ogwa SMS, emikutu gya Bukedde egiri ku facebook n’enkola endala nnyingi. Wammanga y’ensengeka ya bassereebu abasinze: Wammanga be bamu ku bantu 100 abeetisse bannaabwe mu 2017.

  1. OMULAMUZI CATHERINE BAMUGEMEREIRWE Ono yasooka kwatiikirira bwe yakola alipoota eyali ewa bakansala ebbeetu okuggya obwesige mu Loodi meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago ng’agamba nti yali tagiwa kitiibwa. Ku ntandikwa y’omwaka guno, yaweebwa obuvunaanyizibwa okukulira akakiiko okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga era azze ayanika abantu abeenyigidde mu kubba ettaka omuli n’abanene mu Gavumenti, amaggye, abasuubuzi n’abagagga. Ku bano kuliko: Minisita Muluuli Mukasa, Nabbi Samuel Kakande, omugagga Jonh SSebalamu, omugagga wa Movit ne munnamagye Maj. Oketa. Anunudde ettaka lingi okuva ku baali balitutte mu mankwetu n’aliddiza bannannyini lyo ekintu ekimulabisa ng’omununuzi waabwe. Agobesezza n’abanene bangi omuli ab’ekitongole kya poliisi nga Apollo Kateebe ow’e Jinja, RDC Ian Kyeyune n’abalala.
  2. BOBI WINE MU April, 2017, yasooka kugugulana ne Buganda Land Board n’abalangira obunnanfuusi olw’okusenda bbiici ye eya One Love Beach e Busaabala. Olutalo lwagenda mu maaso n’atuuka n’okuloopa abamu ku bakungu ba Ssaabasajja wadde teyaddibwamu. Ono y’omu ku bayimbi abanene abaludde ku ntikko y’okuyimba. Yayongera okwatiikirira bwe yalangirira nti agenda kwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East ekifo ekyali kivuddemu Apollo Kantinti. Kampeyini ze zonna zaali za bbugumu era nga June 29, yawangulira waggulu. Yayongera okufuna amaanyi bwe yeegatta ku babaka banne abavuganya Gavumenti okuwakanya ekiteeso ekiggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’atuuka n’okusibwa mu kkomera. Olwo yali ava mu Amerika mu lukung’aana lw’omugagga Bill Gates. Bobi Wine okuva olwo yeefuze amawulire ne yeeyongera obuganzi mu bantu ne mu muziki. Omulamwa gwe guli ku bavubuka era azze awandiika ebiwandiiko ebikunga abavubuka Pulezidenti Museveni n’amwanukula.
  3. DAVID LUTALO Wadde ng’abayimbi bonna kumpi bavuyizza omwaka guno, David Lutalo ye akyalemeddewo era omwaka guno gumutambulidde bulungi. Mu January 27, yatongoza olutambi lwe olwa ‘‘Onsanuula’’ era ekivvulu kyakwatayo. Azze aleeta ennyimba empya nga ‘Kwasa kwasa, Woloolo ne Ontambuzza mayiro’’ lwe yazzeemu n’omuyimbi wa Niger, Solid Sitar. Ennyimba ennungi zongedde okumutunda mu bategesi b’ebivvulu n’ab’emikolo era guno omwaka ssente azikoze ate nga yeeramula.
  4. DR. STELLA NNYANZI Ono yali musomesa we Makerere. Yasooka kwatiikirira bwe yeeyambula n’asigala mu kawale k’omunda nga yeekalakaasa olw’okumuyimiriza ku mulimu nga tannyonnyoddwa bulungi abantu ne batuuka n’okulowooza nti mulalu. Yagenda mu maaso n’okwambalira Minisita w’Ebyenjigiriza Janet Museveni olw’okulwawo okutuukiriza ekisuubizo ky’okuwa abawala paadi. Kyokka ekyanyiiza abantu kwe kukozesa ebigambo ebiwemula ng’ayita ku mikutu gya yintanenti okuli facebook ne Twitter. Gye byaggweera nga bamukutte ne bamuggalira mu kkomera e Luzira. Oluvannyuma baamuta n’alyoka akomya okuwemula n’okuvuma abantu.
  5. SIPIIKA REBECCA KADAGA: N’okutuusa kati abantu bakyamutenda olw’okukubiriza Palamenti eyayisizza ennongoosereza z’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti awamu n’okwongezaayo ekisanja okuva ku myaka etaano okudda ku musanvu. Kadaaga ennaku zino abadde ku minzaani olw’ebbango eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti ekyayisiddwa ku Lwokusatu wiiki ewedde. Wabula kino abantu abamu baakirabye nga okubalyamu olukwe olw’engeri gy’abadde akubirizaamu entuula zino n’atuuka n’okukkiriza abaserikale ba Pulezidenti okuyingira mu palamenti, okukuba ababaka n’abamu okubasiba.
  6. IBRAHIM ABIRIGA Ono mubaka wa Munisipaali ye Arua. Yasooka n’akola erinnya olw’ennyambala ye nga yeesala engoye za kyenvu, engatto n’emmotoka. Bino byamuweesa n’ekirabo ky’engatto Pulezidenti Museveni ze yagula mu katale e Wandegeya. Yayongera okukola erinnya bwe yavaayo n’awagira ekiteeso gy’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze. Yagamba nti ssinga ekiteeso kino tekiyita yali ajja kulekulira ekifo kye. Wabula wiiki ewedde baakiyisizza. Ono yayongera okwewuunyisa ensi bwe yayimiriza mmotoka n’akyama okumpi n’ekitebe kya Misitule y’ebyensimbi n’afuuyisa. Ekikolwa kino kyavumirirwa nnyo abantu ne bamutwala mu kkooti ya KCCA kyokka baamutanza emitwalo 4 gyokka.
  7. DR. OBUKU OKWARE Ono yayatiikirira nnyo bwe yakulemberamu abasawo okwekalakaasa nga bawakanya ekya Gavumenti obutabongeza musaala n’okukolera mu mbeera embi. Yayongera okukola amamulire bwe yagoba baminisita Pulezidenti Museveni be yali asindise okukkaanya nabo era n’alagira abasawo okusigala nga beekalakaasa okutuusa nga Gavumenti ewulidde ensonga yaabwe. Wabula wiiki ewedde waliwo abaamuteeze ne bamukuba.
  8. BRAYN WHITE Ono amannya ge amatuufu ye Brian Kirumira enzaalwa y’e Mityana. Ono abadde tamanyiddwa mu kisaawe ky’aba ssereebu okutuusa jjo lwe yazze n’ekisawo kya ssente n’atandika okuzigabira abantu n’omulamwa gw’okuyamba abantu okubajja mu bwavu. Abadde yeegulidde erinnya mu kuyamba abantu ng’abawa ssente n’okubagulira ebintu ebikozesebwa mu malwaliro okutuusa gye buvuddeko poliisi y’e Kabalagala bwe yamukutte olw’okukuba muliraanwa we Victor Bitwire amasasi. Bitwire akyali mu ddwaaliro ate Bryan White yatwaliddwa mu kkomera e Nalufeenya.
  9. BRIG. KASIRYE GGWANGA: Ekikolwa kye yakola okwokya ttulakita e Lubowa ate n’amala n’akkiriza nti ye yagyokezza kyewuunyisa nnyo abantu. Kasirye akyawera nti tajja kusasula nnannyini ttulakita ne bwanaakola atya nga ye yamuyiikiriza n’asaalimbira ku ttaka lye.
  10. RAPHAEL MAGYEZI: (Omubaka wa Igara West). Yaleeta ekiteeso ky’ennyingo (102b) eky’okugikwatako.
  11. LAWRENCE MULINDWA: Ono ye nnannyini ssomero lya St. Mary’s SS e Kitende we yazimba St. Mary’s Stadium ng’omuntu. Omwaka guno aba CAF baamuwa olukusa ekisaawe kye okuzannyiramu emipiira egiri ku ddaala lya CAF ekintu ekyayongera okumufuula ow’enjawulo n’omuntu alumirirwa eggwanga lye.
  12. GEN. KATUMBA WAMALA: Wadde abadde amanyiddwa mu bantu ng’omujaasi atalina nziro yonna, olunaku lwa September 27, 2017 bangi balumujjukirirako ng’ali mu Palamenti. Kino kyava ku ngeri gye yayingira mu lutalo lw’okukkakkanya ababaka nga balwana n’abajaasi abaali beesozze Palamenti era kigambibwa nti ye yakuba omubaka Francis Zaake (Mityana munisipaali) eng’uumi eyamutuusa n’okumutwala mu Amerika okulongoosebwa. Kyokka Katumba Wamala bino yavaayo n’abyegaana.
  13. GEOSTEADY Y’omu ku bayimbi abazze beeyubula okuva lwe yayingira ekisaawe ky’okuyimba n’oluyimba ‘Ntunuulira’. Omwaka guno yakoze ekivvulu kye yatuuma Geosteady Live ku Imperial Loyale ekyajjuza. Kati y’omu ku batunuuliddwa ng’abayimbi abanene mu ggwanga era yeeramula.
  14. FAAZA JACINTO KIBUUKA MU 2015, yatabuka ne mukama we Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ow’essaza ekkulu ery’e Kampala. Baali bamuvunaana okweyisa obubi n’okubuulira enjiri eyawukana n’ennono z’eddiini y’Abakatoliki . Kino kyaviirako Kibuuka okuva e Bukalango mu Wakiso nga kigambibwa nti yali asusse okugugulana n’omugenzi JB Mukajanga gwe yali alumiriza okumwogerera amafuukuule eri bakama be. Bwe baamugoba yatandika ekifo ekikye kye yatuuma Mamre e Namugongo gy’asabira. Akyagugulana n’abakulembeze b’eddiini y’Abakatoliki nga bagamba talina kweyita bitiibwa bye yeepaatiikako n’obuyinza obusabira abantu.
  15. NIXON AGASIRWE Omuserikale ono yabadde akulira ebikwekweto bya poliisi eby’enjawulo [Special Operations Unit] era abadde muganzi nnyo eri Ssenkaggale wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura . Baamusongamu olunwe ku baali bateeberezebwa okutta Kaweesi oluvannyuma lwe yali muninkini wa Kaweesi Mbabazi okwasa ebyama . Nixon oluvannyuma yakwatibwa ne banne abalala mukaaga ku misango gy’okuwamba abanoonyi b’obubudamu nabazza mu mawanga gye badduka ekintu ekikontana n’amateeka agafuga abanoonyi b’obubudamo era nakati akyawerenemba n’emisango gino mu kkooti y’amagye.
  16. FRANCIS ZAAKE (MITYANA MUNISIPAALI): Omwaka we gwatandikira ng’abantu batono abamumanyi. Kyokka olutalo olwali mu Palamenti nga September 27, 2017 lwamufuula muganzi mu baagazi ba Togikwatako. Yalwanyisa abajaasi n’aggyayo n’ago mu buto era wadde yakubibwa bubi, naye we yaviiridde mu America okufuna obujjanjabi yayaniriziddwa nga muzira.
  17. MICHAEL KABAFUNZAKI: Yali minisita omubeezi ow’abakozi. Yakola ekyafaayo bwe yakwatibwa n’asibibwa ku mpingu nga kigambibwa nti yali asabye enguzi. Kyali kirudde okulabika okukwata omuntu omukulu ow’ekiti kye ng’alya enguzi. Gye byaggweera ng’obwaminisita babumusuuzizza era akyawerennemba n’omusango mu kkooti.
  18. BAMINISITA IDAH NANTABA NE PERSIS NAMUGANZA Idah Nantaba ye minisita omubeezi owa tekinologiya ate Namuganza ye minisita omubeezi w’ebyettaka. Gye buvuddeko bano bombi katono ebifuba bibabugume mu maaso nga Sipiika nga Nantaba alumiriza Namuganza okugenda mu disitulikiti y’e Kayunga gy’akiikirira n’agezaako okugoba abantu ku ttaka era ensonga zaggweera mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa .
  19. ZARI HASSAN HUSSEIN: Ono ye yali mukyala w’omugenzi Ivan Ssemwanga. Nga tannaba kufa yamusuulawo n’afumbirwa omuyimbi Diamond Platnumz. Kyokka Ssemwanga bwe yafa, yalwanirira nnyo emmaali y’omugenzi ng’agamba nti y’abaana be. Mu kiseera kye kimu abadde mu lutalo ne mmodo eyazinira mu vidiyo ya bba era gwe yazaalamu omwana.
  20. MALE MABIRIIZI: Ono yawawaabira Ssaabasajja Kabaka olw’ettaka ng’awakanya enkola ya Kyapa mu ngalo nga bwe yalangirirwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Omusango gukyagenda mu maaso mu kkooti.

21 Flavia Namulindwa: Ono mukozi wa Bukedde TV aweereza pulogulaamu ya ‘Oluyimba lwo ne Full Doz’’. Engeri gyawerezaamu pulogulaamu zino ekwata abantu omubabiro.

22 Kato Lubwama (Lubaga South): Omwaka agumazeeko ebyobufuzi abitambulizaamu katemba olw’ebigambo byazze afubutuka. Olumu yagugulana ne Muwanga Kivumbi n’amulangira okwambala anda weya eza dabulo kkala. Ababaka baabadde balwanagana n’abajaasi mu Palamenti nga ye ali mu kuzina mazina. Asigadde akyazannya katemba ku siteegi.

23 Ghetto Kids: Baagenda mu Amerika ne bakola ebyafaayo okuzinira ku siteegi ez’amaanyi n’omuyimbi French Montana omuli n’eya BET Awards eyawa Eddy Kenzo engule ng’ate Kenzo yennyini lwe baamuwa engule teyagirinyako.

24 George Mutabaazi: Ye ssentebe w’e Lwengo atera okukuba abantu kibooko naddala abamenyi b’amateeka. Wabula gye buvuddeko ebintu byamutabukira bwe baamusika ku nnyonyi ng’atamidde ne bamufulumya. Baddamu ne bamukubira n’e Nateete.

25 Erias Lukwago: Enkaaba ya wuuwi...woowe nga poliisi emunyiga ebitooliro na kati abantu bagikozesa nga lingi tooni.

26 Minisita Ronald Kibuule: Yayingiza emmundu mu Palamenti ekyavaako ababaka okukubaganira mu palamenti. Yagugulana n’abatuuze ku nsonga z’ettaka.

26 Aloysius Bujingo: Ono y’akulira ekkanisa ya House of Prayer Minisitries International. Erinnya lye lyavuga nnyo bwe yakwata bayibuli n’azookya era ebintu bye byaggweera mu kkooti nga bannaddiini abalala bawakanya ekikolwa kino.

27 SK Mbuga: Yafuna akabenje ku pikipiki ey’omulembe katono emukutule amagulu. Amanyiddwa okutambulira mu mmotoka ez’ebbeeyi.

28 Emmanuel Lwasa: Nnannyini ekifo kisanyukirwamu ekya Club Tervan e Kyabakuza nga kati ye muninkini wa Desire uzinda.

29. Moses Magogo: Ye Pulezidenti wa FUFA. Toyinza kwogera ku buwanguzi bwa ttiimu ya Cranes n’omuleka bweru. Ku mulembe gwe, Uganda yaddamu okufuna omukisa okwetaba mu mpaka za Africa e Gabon. Baamwanjudde n’akola n’embaga.

30. Spice Diana: Omuyimbi ono yakubwa poliisi mu kivvulu kya KCCA. Oluvannyuma yakuba oluyimba n’alutuuma ‘Anti kale’. Abaana ba Wakastaz Band baalugeegenya ne lukwata abantu omubabiro ne yeeyongera.

31. MC Mariach – Amannya ge amatufu ye Charles Kasozi. ng’ogyeko okwerisa enkuuli mu nsike ya komedi era bangi bamwogerako ng’asinze banne okukola obulungi omwaka guno nga ne ddiru z’ebweru afunye nyingi, omwaka yaagugadde na kwanjulwa mukyala we Lydia Mirembe Bogere omukolo n’okutuusa kati ogukyayogeza abantu b’e Kamuli mu Busoga obwama.

32 Sheeba Karungi- n’omwaka guno ayongedde okulaga amaanyi mu nsike y’okuyimba ku ludda lw’abakyala olw’ennyimba ze ezicamula abavubuka n’abantu abakulu ate abalala emboozi okusinga bagitambuliza ku nnyambala gy’ayolesa buli lwalinya ku siteegi anti bwatayambala nkunamyo wakiri akagoye nga kamutipye.

33 Ying. Ronald Balimwezo (Meeya Nakawa Division). Y’omu ku bameeya abasinze okukolerera abantu baabwe era atunze nnyo ekitundu ky’e Nakawa. 34 Eddy Kenzo- Amannya ge amatufu ye Edirisa Musuuza. akikiridde bulungi Uganda mu nsike y’okuyimba ebweru era ng’ogyeko engule eziwerako zaawangudde mu mpaka z’okuyimba ku lukalu lwa Africa ne mu nsi yonna, atalaaze ensi eziwerako wabula asanze okusoomozebwa mu nsonga z’amaka kigambibwa abadde mu kugulaana ne mukyala we Rema Namakula

35. Ssegirinya Muhammed: Ono Katonda yamuwa eddoboozi n’obwakazannyirizi ebimuyambye okutuukiriza ebigendererwa bye. Ekifo kye akikozesezza bulungi okwetunda mu bantu.

36. Bebe Cool; Ennyimba ze okuli Katono. Emboozi z’amwala zimutunze nnnyo omwaka guno.

37 Sheikh Nuhu Muzaata: Yawakanya nnyo enkola y’ekyapa mu ngalo era n’alumba ne Katikkiro Mayiga.

38 Ssentebe wa Wakiso Matia Bwanika: Y’omu ku basinze okukola obulungi mu bassentebe ba Disitulikiti.

39 Ssenga Kezia Kulanama: Yakola okwanjula n’embaga nga kigambibwa nti ono yali musajja waakusatu mu bbanga ttono nnyo.

40 Swengere Famire- Bano beeyubudde mu nsike ya komedi. Basobodde okuva ku Ttivvi abantu kwe babadde babamanyidde ne batandika okukola ebivvulu bya komedi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

41 Abakola pulogulaamu y’Ekyenkya ku Bukedde TV 1 (Josephat Sseguya, Godfrey Kigobero, Siraje Kizito ne Dorah Namala)

42 Maama Fiina: Ono bwe yafi irwa bba Maj. Kiggundu eyakubwa amasasi, yakwatagana ne Hajji Kiyimba ow’e Nsangi. Omukwano gwabwe tegwawangaala kyokka mu bwangu ddala yategeeza nga bwafunye Haji Ismail Segujja.

43 Fred Ssebatta: bw’oyogera ku bayimbi abasinze okufuna mu mwaka guno, Ssebatta y’omu kubano. Omwaka gwamutandikira bubi olw’amabanja agaali gamutuuse mu bulago kyokka ennaku gy’abadde nayo ku mutima, Gen. Salim Saleh yagimunaazizzako bwe yamuwadde obukadde 50 ze yawangudde mu mpaka z’abayimbi bakadongo kamu ezasibwawo okuyiiya oluyimba olusinga wansi w’omulamwa ogw’okutumbula eby’obulimu n’obulunzi mu nteekateeka y’ab’ekitongole kya Operation Wealth Creation.

44 Jack Pemba- ng’oggyeeko okugulaana ne Brian White, Jack Pemba omu ku bavubuka abeekolede erinnya mu nsike y’okulya obulamu olw’engeri gy’azze amansamu ssente n’okuvulumula ebyuma (mmotoka) eby’ebbeeyi guno omwaka tegumutambulidde bulungi lwa mabanja agabulako akatono okumutwaza mu kkomera e Luzira.

45 Emanuel Lwasa: Ye nnannyini kifo ekisanyukirwamu ekya Club Tervan e Kyabakuza ayatiikiridde nnyo olw’okupepeya ne Desire Luzinda

46 Allan Kanyike- amanyiddwa okulya n’okuzina amazina ya yafunayo omubeezi, Jessica kati gwe bapeepeeya naye.

47 Kazibwe Kapo: Ng’ogyeko oluyimba lwe ‘Emundu ku Ggomboloola’ okufuuka eng’ombo omwaka menti ku nsonga ezitatuukiridde.

48 Asan Kasingye: Ono ye yasikira Afande Felix Kaweesi ku ky’obwogezi bwa poliisi. Omulimu teyagulwako ne baguwa Emillian Kayima.

49 Ibrahim Ssemujju Nganda: Munnamawulire ate munnabyabufuzi. Y’omu ku bazze bawa ababaka abawagira okukwata ku nnyingo (102b) obuzibu ate ng’ateesa ku nsonga eziruma abantu.

50 Joshuo Cheptegei: Yawangulidde Uganda omudaali mu misinde 51. Maj James Nuwagaba: Museveni yamulonda okulwanyisa envuba embi ku nnyanja era ebyennyanja bizzeemu okwala.

52. Minisita Sarah Opendi: Yeefuula omulwadde n’akwata abasawo mu ddwaaliro ly’e Kiruddu abaali baggya ssente ku balwadde mu bukyamu.

53. Paasita Robert Kayanja yeenyigidde mu kugatta abagole mu kikungo mpozzi n'ekung'aana z'okusaba kumpi ezimaze omwaka mulamba eza '77 Days of Glory' (DOGS).

54. Juliana Kanyomozi: Yafulumya oluyimba I’m still here n’akola vidiyo efaanana ey’oluyimba lw’omuyimbi Omumerika Beyonce

55. Omusuubuzi Agnes Babirye: Azimbye ekizimbe kya Park View mu kaseera katono nga tayimiriddemu.

56. Omusuubuzi David Mutebi: Alaze amaanyi bw’aguze akeedi 6 mu Kampala.

57:Bashir Mayiga: Omulimi w’e Masaka asomesa ku nnima y’obutunda.

58. Rema Namakula: Oluymba lwa Maama lumuzzizza ku maapu

59. Omubaka Abdu Katuntu akulira akakiiko ka COSASE eyasuuza abakozi ba gavumenti obuwumbi 40 mu bitongole eby’enjawulo.

60. Omutume Joseph Sserwadda eyaggula olutalo ku basumba abafere ababadde bbazzeemu okumeruka.

61. Prophet Mbonye eyakombesa abagoberezi ku ngatto ng’abasabira bafune ebyamagero.

62 Ann Kansiime: Agezezzaako okutunda komedi wa Uganda wano ne mu nsi z’ebweru. Kyokka naye alina ebizibu by’obufumbo oluvannyuma lwa bba okumulekawo.

63. Dr. Naluyima: Asomesezza nnyo ebyobulimi n’obulunzi mw’asomeserezza n’abaana abato.

64 Meeya Mohamed Kayanja ow’ekibuga ky’e Ntebe akuumye ekibuga nga kiyonjo.

65: Minisita Vincent Ssempijja agabye nnyo endokwa z’emmwanyi mu ggwanga okuyamba abantu okweggya mu bwavu.

66: Omuyimbi Doreen Mutiibwa Ku bunene bwe yayanjudde Michael Kinene

67. Minisita Nadduli: Y’omu ku baakuyega ennyo ekukyusa akawaayiro ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti.

68 Bart Magunda Katureebe: Yalondebwa ku bwassaabalamuzi bwa Uganda.

69. Gen Salim Saleh: Omuwabuzi wa pulezidenti eyeefunyiridde okulwanyisa obwavu mu Uganda.

70. Msgr Magembe: Akunganyizza abantu bangi okusaba e Bukalango.

71. Dr. Steven Kasiima Olw’ebikwekweto bya Fiika Salaama okulwanyisa obubenje.

72. RPC Siraje Bakaleke: Alwanyisaizza obumenyi bw’amateeka mu Kampala ng’assaawo ebikwekweto okukwata ababbi. 73 Ssabasumba Kizito Lwanga: Yayogeddwaako olw’okuwabulanga Gavumenti.

74 Allan Sewanyana (Makindye West) N’okutuusa kati abawakanya okuggya ekkomo ku myaka bakyamutenda olw’obuvumu bwe yakozesezza bwe yabadde agezaako okukwakkula lipooti eyabadde esomwa Jacob Oboth Oboth (ssentebe wa kakiiko ka mateeka).

75 Mubarak Munyagwa (Kawempe South) Mubara Munyagwa y’omu ku babaka abasinze okukyamula ennyo abantu olwe ngeri gyazze yeewera n’okukakasa nga bwatali wa muzannyo, wadde emirundi mingi bibadde bikoma mu bigambo. Yatiisatiisa nga bwamaze okukajjuza

76 Ssaalongo Richard Kayiira asoma amawulire ku ttivvi. Acaase nnyo olwa pulogulaamu fayiro ku mmeeza.

77 BP. Wilberforce Kityo Luwalira Omulabirizi we Namirembe yalondeddwa okwatiikirira mu kubuulira ekigambo kya Mukama.

78 Ykee Benda y’omu ku bayimbi abapya agazezzako okukola obulungi omwaka guno.

79 DJ Shiru; Yayatiikiridde mu kutambula emiziki nga kati yagasseeko okuyimba.

80. Bp. Joseph Ssemwogerere: Ye musumba w’e Kasana Luweero, yalondeddwa olw’enkulaakulana gy’akoze mu ssaza lye n’okuliisa ekigambo kya Katonda.

81. Norbert Mao: Ye Pulezidenti wa DP eyayatiikiridde olw’engombo ya Togikwatako.

82 David Mugema- Omwaka guno, akaduukulu ka poliisi kafuuse maka ge ag’okubiri ng’entabwe eva ku luyimba lwe ‘Wumula’ lwe bagamba nti lukkona omukulembeze w’eggwanga era gyebuvuddeko yasindikibwako ne mukomera e Luzira.

83. Idringi Patrick Salvado: Yafunye obuwagizi bungi olwa komedi gw’azannya.

84 Patrick Oboi Amuriat: Yawangudde obwa Ssenkaggale bwa FDC n’alemesa Mugisha Muntu eggaati.

85. Madrat ne Chiko: Baatiikiridde nnyo mu Komedi omwaka guno.

86 Titie Table: Yayawukana mu butongole ne Katongle ne bsakola embaga ne Deo Sserunjogi.

87 Julie Mutesasira Okwawukana n’omusumba Mutesaasira n’asalawo okugenda mu Amerika.

88. Mugisha Muntu yanyiiga n’alangira Besigye obunnanfuusi olw’okuwagira Amuriat eyamuwangula ku bwapulezidenti bwa FDC.

89 Abraham Luzze amanyiddwa nga Mr. Economy. Yateeka ssente mu Cranes n’emipiira gy’amasaza.

90. Dr. Besigye: Yadde omwaka guno abadde tavuga nnyo, baamulonze olw’okulwanirira enkyukakyuka mu Gavumenti.

91 Winnie Kiiza: Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti ng’abadde muvumu ng’alina ensonga gy’alwamniriri naddala ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

92 Simeo Nsubuga; mubaka wa Kassanda South: Y’omu ku baasoooksa okuvbaayo okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Kino kyamutuusa okulumbibwa Kyumakyayesu ku mikolo gya Kabaka e Buweekula Mubende.

93 Isabirye Joel yamenye likodi bwe yawasizza omukazi owookuna. Yayawukana ne Rebecca Jingo.

94 Muwanga Kivumbi: omubaka wa Butambula, alabikidde mu kakiiko k’ebyokwerinda akakulibiriza Judith Nabakooba ng’alumba poliisi n’ebitongole by’okwerinda olw’okusibira abantu e Nalufenya.

95: Emilian Kayima; Yalondebwa okwogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano. Yali ava mu ofi isi y’ebyettaka e Kibuli ng’addira Patrick Onyango eyali mu kifo kino. Yayatiikirira nnyo mu biseera eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi mwe yattirwa era yafuba nnyo okunnyonnyola eggwanga wa poliisi weetuuse. Kati yakuziddwa nga ye mwogezi wa poliisi omukulu mu ggwanga ekifo ekibaddemu Asan Kasingye.

96. Dr Jose Chameleone: Yakoal konsati ya hit after hit ng’ebiseera ebyo abadde bweru nga gy’akubira emiziki.

97 Winnie Nwagi; Okuvuganya kwe ne Irene Ntale ekyavaako Ntale okwabulira Swangz Avenue.

98: Odonga Otto: omubaka wa Aruu y’omu ku baabadde abakambwe mu palamenti olw’abaserikale okuwamba essinzizo.

99 Omutendesi Mike Mutebi owa KCCA yawangungulidde ttiimu ye ebikopo bibiri.

100. Martin Ojara Mapinduzi: Ssentebe wa disitulikiti y’e Gulu eyanywa akendo mu kukola obulungi mu bassentebe ba disitulikiti. guno, omwezi oguwedde yalinnye ku nnyonyi omulundi gwe ogwasoose ng’agenda okuyimba era ono yabadde ne Haruna Mubiru gwe yagenze naye e South Africa.