Nyumirwa Ssekukkulu na bino

By Musasi wa Bukedde

SEKUKKULU yeesungibwa mu nsi yonna, bw’ogattako okutuukira mu nnaku ezisembayo mu mwaka olwo ne lwegattamu ebbugumu erimalako omwaka ne gujabagira.

2479646314150305719564371113003995006422912n 350x210

Ebyo nga obitadde ku bbali, lwe lunaku Yezu kwe yazaalibwa nakyo kirufuula ow’enjawulo anti bangi abamukkiririzaamu.

Ate nga lugatta abantu bonna. Naye bw’otunulamu enjaguza ya Ssekukkulu kumpi yeemu mwaka ku mwaka, omulundi guno waliwo ebintu by’osobola okukyusaamu olunaku ne lukunyumira okusinga bulijjo.

OKUFUMBA

Margaret Lubega Nambi omukugu mu kufumba, nadisuubidde buli mukyala omufumbo okufumbira famire ye. Abamu mulowooleza mu kusiika, ku luno kyusaako ofumbe etali bajja kuwulirawo enjawulo.

Fumba ebika by’enva n’emmere eby’enjawulo naye ate tofumba bingi bye batajja kumalawo. Ennyama ensiike oba enkalirire erabisa eky’ekijjulo nga kyanjawulo. Leero totokosa, fumbira mu bookisi ogisibire ku mmere. Nkimanyi osobola okubikola naye bulijjo obulwa budde n’obutakissaako mutima.

Olowooza ku mubisi gw’obutonde okugeza akatunda, bakubire ku bibala, leka kulowooza mu sooda yekka. Bagattireko ebibala kijja kuleeta enjawulo ku kijjulo kya Ssekukkulu.

GENDA MULABE KU BISOLO

Annet Nandujja, omuzinyi w’amazina amaganda; Olunaku luno abato balwagala nnyo, kuba omwana ne bw’aba akoze omusango nga tebamukuba kuba Ssekukkulu.

Abaana batwale balabe ku bintu eby’enjawulo ate nammwe abantu abakulu okugeza okugendako mu mizannyo, okugenda okulaba ku bisolo n’ebirala kibayamba okuggula obwongo.

Batwaleko ne ku mizannyo egy’enjawulo bazannyemu bakimanye nti eno ebadde Ssekukkulu. Osobola okugendako akawungeezi mu bifo ebisanyukirwamu, naye tolina kwejalabya kuba embeera y’ensawo si nnungi kola ekisaanidde era abantu bajjja kunyumirwa.

Ggwe ali mu kyalo, ku bisaawe wabeerayo emipiira osobola okuwummulirako eyo akawungeezi.

OMWAMBAZI

Ssonko agamba; Nkimanyi engoye z’ogenda okwambala weeziri, essuuti omwami gy’oba oyambala nga ogenda mu ssinzizo, akawungeezi kyusa oyambale omujoozi munda ozzeeko ekkooti.

Omwana, mwambaze engoye z’atatera kwambala, naye amanyi nti olunaku luku, zino zandibadde mpya ssinga obusobozi bubaawo. Abakyala abambala eby’okwewunda, tossaako langi zigenda kutiisa bano mu masinzizo.

Bw’otunuulira ennyambala eriwo ennaku zino eswaza kubanga abakyala bettanira engoye ennyimpi ate nga ze batwala ne mu masinzizo, kino kikyamu.

Yambala olugoye oluggyayo obukulu bw’ekifo gy’olaga okugeza ekitenge oba ennyambala y’obuwangwa ate akawungeezi kyusa okusinziira gy’ogenda okucakalira.

Wabula abalina essuuti ku makya nazo zikola bulungi. Tomannyi sannyu bazadde bo lyebayinza kufuna bwokere n’oyamba busuuti ya maama wo ng’oli muvubuka, nogenda ku kkanisa yonna okutendereza waakiri obukete n’obwambala ng’okomyewo, kino kitegeeza ojja kuba olaze enjawulo mu nnyamba, anti tubiraba byabulijjo kati ggwe saawo enjawulo.

Tomala gambala langi zonna z’osanze, yambala langi okusinziira ku ndabika yo, omweru langi zonna zambale kuba zikukolera, omuddugavu toyambala langi zizikira, enjeru, emmyuufu, bbulu, kyenvu, kacuungwa zikola.

Abantu abamu tebanyuma nga bambadde kuba tebamannyi mibiri gyabwe, naye kasita omanya omubiri omanya buli kimu kijja kutambula.

Wabula ku kwambala mujjikire obutewebuula.Kuba olina okukimanya nti olunaku si lulwo, wabula mazaalibwa ga Mukama waffe Yezu, n’olwekyo buli ky’okola tolina kuva ku mulamwa..