Kabaka alagidde: 'Ekiseera kituuse Abaganda okwenyigira mu byobufuzi n'obukulembeze mu bifo ebitali bimu''

By Dickson Kulumba

Nga kye ngezaako okuteegeza, ekiseera kituuse twenyigire mu byobufuzi n’obukulembeze mu bifo ebitali bimu,” Kabaka bwe yalagidde abantu be.

Kabakadinner14 350x210

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi asinzidde ku mukolo kwe yasisinkanidde Abaganda ababeera ebweru wa Buganda n’agamba nti ekiseera kituuse abantu be bavuganye ku bifo byonna eby’obukulembeze mu Uganda.

Kabaka yagambye nti ekiseera kino Buganda eri mu kusoomoozebwa mu byenfuna n’ebyobufuzi nga kyetaagisa okuba abanywevu era abavumu.

“Ekimu ku bitukosa n’okutuzza emabega kwe kulekera abalala okutusalirawo ku nsonga enkulu ezikwata ku Bwakabaka n’eggwanga lyaffe.

Ekiseera kituuse eddoboozi lyaffe lyongere okuwulirwa n’amaanyi amangi.

Okusobola okutuuka ku kino, tuteekwa ffenna obutazingira mikono mabega.

Nga kye ngezaako okuteegeza, ekiseera kituuse twenyigire mu byobufuzi n’obukulembeze mu bifo ebitali bimu,” Kabaka bwe yalagidde abantu be.

Wakati mu nduulu ey’olulekereke, Kabaka yeebazizza abantu be ababeera ebweru wa Buganda olw’okukomyawo abaana baabwe n’agamba nti kiyamba okubalaga n’okubamanyisa ensibuko yaabwe.

“Mubalambuze obutaka n’embuga z’ebika byammwe. Buganda eyimiriddewo ku bika, kino kikulu era abaana baffe kikulu okubimanya obulungi. Njagala okwebaza ebigambo n’ebirowoozo by’ababaka, tujja kubirondoola n’obwegendereza era ekiseera ky’ekimu twebaza amakula,” Kabaka yategeezezza.