Omubaka Nabilah ali ku ndiri: Famire ye eyogedde ekimuluma

By Musasi wa Bukedde

ABOOLUGANDA lw’omubaka wa Kampala omukazi, Nabirah Naggayi Ssempala bagambye nti beeraliikirivu olw’embeera ye eyeeyongedde okwonooneka.

Tuula1 350x210

Bategeezezza nti kati abasawo basazeewo alongoosebwe okusobola okutaasa obulamu bwe.

Nabilah yatwalibwa mu ddwaaliro lya Sturgeon Hospital Alberta e Canada ku Lwomukaaga.

Mohles Kalule Sseggulu, mwannyina yategeezezza Bukedde eggulo nti kati e Canada, Nabilah awezezzaayo wiiki bbiri ng’ajjanjabwa.

Waliwo abagamba nti Nabilah okutwalibwa mu ddwaaliro yakikola kwetegula kalulu akaakubwa mu Palamenti ku tteeka eriggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kyokka Kalule yagambye nti abo babatwala ng’abakudaalira mu bulamu bwa mwannyinaabwe.

Bwe yabuuziddwa lwaki yagendera mu kiseera we baayisiza etteeka lino, Kalule n’annyonnyola nti: Obulwadde bwamukwata ku Mmande mu wiiki mwe yali asuubirira etteeka okuleetebwa.

Yasalawo awalirize okusobola okubeerawo ng’okukuba akalulu kukolebwa alyoke agende ajjanjabibwe kyokka ku Lwokutaano lwe lyalina okwanjulibwa ne litaleetebwa ne bongezaayo.

Ebyembi, obulwadde bweyongera nga takyasobola wadde okutambula nga n’ebigambo abaka bibake, famire n’esalawo agende afune obujjanjabi.

“Twasalawo okumutwalako e Nakasero Hospital kyokka ng’embeera eyongera kutabuka era ku Lwomukaaga enteekateeka ne zikolebwa ezimwongerayo e Canada,” bw’agattako.

Yagambye nti omubaka abadde n’ekizibu mu lubuto ng’atawaanyizibwa enseke n’endira era abadde aludde nga bamujjanjabira e Canada mu ddwaaliro ly’alimu kati, buli mbeera lw’ebadde etabuka ennyo.

Yagambye nti baali baamulagira okuddayo ng’omwaka oguwedde tegunnaggwaako, kyokka n’asigala ng’awaliriza okutuusa ekizibu lwe kyasajjuse.

Ate Joseph Kasule, omwogezi wa Nabilah yagambye nti abasawo baasazeewo alongoosebwe nga January 15 omwaka guno kubanga ekizibu kibadde kikuze.

Yategeezezza nti okumuwa obudde obuwanvu okutuusa lw’anaalongoosebwa, baabannyonnyodde nti omubiri gulina okuweebwa obudde okusaka amaanyi era ekiseera kino embeera ye yeeraliikiriza wabula abasawo baabagumizza nti bakola ekisoboka era basuubira nti waakutereera nga bamaze okumulongoosa.

Kyokka abamu ku bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti bakyalimu akakunkuna nga bagamba nti engeri gy’abadde atera okulabika olumu ng’ayogera bulungi n’aba NRM, kyandiba nga yasobeddwa okusalawo oba alonda ‘NO’ oba ‘YES’ ku ssaawa y’okuyisa etteeka eriggyawo ekkomo ku myaka mu lutuula olwaliwo ku Lwokuna nga December 20, 2017.

Waliwo ababaka abatunuulirwa ng’abali ku ludda oluvuganya gavumenti abeewuunyisa bannaabwe nga bawagidde ekkomo liveewo nga mu bano mwalimu Beatrice Anywar (Maama Mabira) ne Anita Among.

Nabirah teyaliiwo ng’ababaka bakuba akalulu era ensonga eyaweebwa ya bulwadde okufaananako n’omubaka wa Bukomansimbi North Deogratius Kiyingi eyalaga nti mulwadde kyokka ab’oludda oluvuganya abamu ne bakissaawo nti engeri mukazi we Florence Nakiwala gy’ali Minisita mu gavumenti (avunaanyizibwa ku bavubuka n’abaana) ate ng’abadde awagira ‘ekwatibweko,’ yeesanze mu kaseera akazibu.

Wabula mu kwanukula abalina endowooza nti Nabilah alina kye yeewala, mwannyina Mohles Sseggulu Kalule yakangudde ku ddoboozi nga bw’alaga okunyolwa nti:

Aboogera ebyo ndowooza tebalwalangako oba okulwaza!

Omuntu alwala n’atasobola wadde okutegeera omuntu amuli mu maaso, bw’omwogerako ebyo obeera mubi nnyo. Omubaka mulwadde nnyo era bategeka kumulongoosa. Mu kiseera kino yeetaaga nnyo essaala zaffe okusinga okwogera ebitaliiko mutwe na magulu.”