Gav't edduukiridde amasomero gaayo e Lwengo

By Musasi wa Bukedde

GAVUMENTI edduukiridde amasomero gaayo mu disitulikiti y'e Lwengo agabadde mu mbeera embi.

Lwengo 350x210

Kino kiddiridde Bukedde okufulumya amasomero agalaga engeri amasomero gano gye gali mu mbeera etategeerekeka omwaka oguwedde nga n'agamu enkuyege zaalya emiti, ebyayi n'essubi ebyakozesebwa okugasereka nga n'agamu gali kyangaala!.     

Oluvannyuma lwa Minisitule y'Ebyenjigiriza okufuna amawulire ago, baatudde ne basalawo okusakira amasomero gano obuyambi nga bayita mu bbanka y'ensi yonna eya WORLD BANK.    

Bafunye obuwumbi 5

Ying. Robert Kaweesi, avunaanyizibwa okulondoola ssente zino n'okulambula amasomero gano agaatandise okuzimbibwa yagambye nti baafunye obuwumbi butaano (5) okukola ku pulojekiti y'okuzimba ebizimbe ebiggya.

Kaweesi yategeezezza nti kawefube gwe baliko kwe kulaba nga bagaggyako engalo nga olusoma lwa ttaamu esooka terunnatandika kisobozese abasomesa n'abayizi okukola emirimu gyabwe mu budde.    

Amasomero mwenda aga Pulayimale ge galidde empanga okuli Nakateete Baptist P.S, Kyampalakata P.S, Bijaaba Moslem P.S, Lubaale P.S, Kisaana Bataka P.S Birunuma P.S, Lwekisujju P.S, St Mary's Kitooro P.S ne Lwebidaali P.s.     

Abazadde basanyufu

Bo abazadde n'abakulembeze basanyufu olwa Gavumenti okwanukula omulanga gwabwe.

Bagamba nti kino kigenda kuyambako mu kuzza omutindo gw'ebyenjigiriza ogubadde guserebye awamu n'okumalawo okwosaayosa kw'abasomesa n'abayizi okubadde kufuuse baana baliwo mu Lwengo.