Abawagizi ba Kadaga beeyiye ku kkooti okuwulira omusango gw'ababaka be yagoba mu Palamenti

By Musasi wa Bukedde

Abawagizi ba sipiika Rebecca Kadaga bakedde kweyiwa ku kkooti Enkulu mu musango ababaka abaagobwa mu palamenti, bwe baali bateesa ku bbago ly'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Morning 350x210

BYA Alice Namutebi 

Abawagizi ba sipiika Rebecca Kadaga bakedde kweyiwa ku kkooti Enkulu mu musango ababaka abaagobwa mu palamenti, bwe baali bateesa ku bbago ly'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. 

Abawagizi abambadde t-shirit eza kyenvu nga bakutte ebipande okuli ekigambo ebisuuta Kadaga bakedde mu bungi ku kkooti nga bagamba nti ababaka yabagoba mu butuufu kuba baasiiwuuka empisa. 
 
Gye buvuddeko, omulamuzi wa kkooti enkulu Margret Oguli yalagira Kadaga yeeyanjule mu kkooti leero okunnyonnyola lwaki yagoba ababaka abali ku ludda oluvuganya gavumenti bwe baali bateesa ku bbago ly'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti
 
Ababaka okuli; Mubarak Munyagwa, Ssemuju Nganda, Alan Ssewanyana, Wilfred Niwagaba bagamba nti sipiika okubagoba mu Palamenti yakikola mu bukyamu kubanga yali amaze okwongerayo olutuula lwa Palamenti nga yeeyambudde dda obuyinza bwa sipiika.