Abaagenda mu byalo okulya Ssekukkulu bibasobedde!

By Ali Wasswa

ABAAGENDA mu byalo nga basagambiza okulya ennaku enkulu bibasobedde oluvannyuma lw’emiwendo gy’entambula okudda mu bibuga okwekanama.

Kuzo 350x210

Ebisale by’entambula byalinnye okuva mu bitundu by’omu bugwanjuba okuddayo e Kampala, Masaka ne mu bitundu by’e Kigezi okudda mu Mbarara.

Okuva e Kanungu Kihihi Kisoro okudda e Kampala 70,000/- ate okuva e Kihihi okutuuka e Mbarara 40,000/-, okuva e Kisoro okugenda e Mbarara nawo 40,000/-.

Okuva mu kibuga Kabale okugenda e Kampala 50,000/- ate okuva e Mbarara okudda e Kampala 35,000/- .

Abamu ku basaabaze abaasangiddwa mu Paaka y’e Mbarara baawaliriziddwa okutunda ku byabwe okuli n’emmere gye baabadde nabo bafune ensimbi ezibatambuza.

Entambula okulinnya kivudde ku kuba nti okuva e Kampala bbaasi bavuga nkalu ng’ate balina okufuna ez’amafuta.