Omusuubuzi alwanaganye n'omubbi eyamukubye amasasi n'amusuuza emmundu

By Musasi wa Bukedde

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Hellen Butoto yakakasizza nti emmundu bagirina era n’agamba nti ya kika kya SMG ng’eri mu mannya ga poliisi; UG POL 5681003166 - Code 3166.

Laga 350x210

BYA MUKASA KIVUMBI

ABAZIGU ab’emmundu bayingiridde omusuubuzi w’ebyennyanja ne bamukuba amasasi kyokka n’alwanyisaako omu okutuusa lw’amusuuzizza emmundu ne badduka.

Wakati mu bulumi, akutte emmundu ekiro ekyo n’agitwala ku poliisi ng’avaamu omusaayi era eno gye bamuggye ne bamutwala mu ddwaaliro okumujjanjaba.

Eyakubiddwa amasasi mu kisambi, ku lubuto ne ku kabina ye Ismail Sembatya, omusuubuzi w’ebyennyanja ku mwalo e Kiyindi era nga mutuuze ku kyalo Kiyindi –Zzinga mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y’e Buikwe.

Sembatya eyasangiddwa mu ddwaaliro yagambye nti abazigu bazze ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro era yabadde yaakayingiza mmotoka mu galagi y’enju.

Yagambye nti yabadde yaakatuuka mu nju, ne wabaawo omwana afuluma ebweru.

Yakomyewo emisinde n’amugamba nti, “taata abasajja ab’emmundu baabo ye n’adduka ng’adda mu kisenge ekirala.” Sembatya yategeezezza nti yayanguye okwekweka emabega w’oluggi, n’alaba abasajja babiri omu n’ayingira mu nju ng’akutte emmundu.

Omubbi yamulabye we yabadde yeekwese n’awulira ekibwatuka kwe kubuuka n’akwata ow’emmundu ne batandika okulwanagana nga bw’ayita munne eyasigadde ebweru. “Nawulidde amasasi amalala nga gavuga wakati mu kulwanagana nga njagala okumuggyako emmundu.

Nakutte emmundu ne ngitunuza wabweru olwo nga ne mukyala wange muwulira akuba enduulu n’okuyita abantu okujja okutuyamba. Mu kiseera ekyo natandise okuwulira omusaayi nga gunvaamu naye ng’emmundu sigita.

Ekyaddiridde ye muzigu okweyambula olukoba lwayo n’adduka. Nakutte ebigoye ne nneesiba awaabadde wava omusaayi ne nziruka okutuuka ku poliisi y’e Kiyindi ne mbawa emmundu. Wano bannange bazze ne banzigyawo ne bantwala mu ddwaaliro.

Sembatya baamusoosezza mu ddwaaliro e Buikwe gye yafunidde obujjanjabi n’oluvannnyuma n’aggyibwayo n’atwalibwa e Kawolo okumukuba ebifaananyi bya X-Ray ebyalaze nti essasi eryamukubiddwa mu kisambi teryakutte ggumba wabula okuyita mu nnyama.

Eddala eryamukubiddwa ku lubuto nalyo lyakutte lususu ne liyita ne ku kabina. Akulira eddwaaliro ly’e Kawolo, Dr. Joshua Kiberu yagambye nti omulwadde baamwekebezze ne bamukkiriza okuzzibwayo e Buikwe nga bwe baasabye.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Hellen Butoto yakakasizza nti emmundu bagirina era n’agamba nti ya kika kya SMG ng’eri mu mannya ga poliisi; UG POL 5681003166 - Code 3166.

Yasangiddwaamu amasasi 12 n’agamba nti poliisi etandise okunoonyereza ku mmundu eno n’engeri gye yatuuka mu mikono gy’abantu abakyamu. Ekirala, abaabadde n’emmundu banoonyezebwa.