Abeddira Enkima bakungubagidde Nkoyoyo

By Dickson Kulumba

OMUTAKA Nsejjere Mugwanya Mugema akulira ekika ky’enkima atendereza omugenzi eyali Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo ng’omuzzukkulu abadde ayagala ekika kye awatali kutwalibwa ddiini era n'asaba abazzukulu be bannaddiini okumulabirako.

Ttabankima1 350x210

Bino yabyogeredde mu Ttabamiruka w’ekika kino eyabadde e Kawaala mu ggombolola y’e Lubaga- Kyaddondo ku Lwomukaaga January 6, 2018 ng’abeddira enkima bonna bawaddeyo akadde ak’okusirikirira okussa ekitiibwa mu mugenzi abadde ava mu ssiga lya Mmande e Kabembe- Kyaggwe.

“Nkoyooyo okuggyako okubeera ne kkoola mu bulago naye abadde ayagala nnyo ekika kye era nga wonna w'omutuukirako nga nsonga y'ekika, abadde afaayo. Abadde afaayo okulaba ng’ensonga z’owessiga Mmande mw'ava nga zitereera. Ffenna abasigaddewo tusabe tubeere nga tufuna eky’okulabirako naddala bannaddiini kubanga abamu ekika kibawunyira ziizi,” Omutaka Nsejjere Mugema bwe yatendereza omugenzi.

Mugema yakunze abazzukulu okwongera okwewaayo okulaba nga bamaliriza ofiisi yaabwe ezimbibwa mu kifo kino nga yasalawo n'awa ekika ekitundu ku ttaka lye e Kawaala okuzimbamu ofiisi.

Yalagidde n'abaamasiga buli omu okuwandiika amannya agatuumibwa mu ssiga lye kiyambe abazzukulu okutuuma amannya ge gamu- ekintu ekitta amannya agatatuumwa.

Micheal Mugadya Sserubidde nga ye Katikkiro w’ekika kino yasabye bazzukkulu banne okuwaayo ensimbi ezitambuza emirimu gy’ekika naddala okuli okuwa omusolo gw’ekika n’okwenyigira mu nkiiko zonna eziyitibwa.

“Ekika kyasalawo buli yeddira enkima, alina okuwa ensimbi 10,000/- ng’omusolo gw’ekika. Guno tusuubira okuyamba Mugema okutambuza emirimu. Ekirala twagala mwenna mwenyigire mu bunaanyizibwa bw’ekika ku bukiiko obw’enjawulo era abo abanaabeera bataweereza bulungi, baakukyusibwa,” Mugadya bwe yagambye.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yayogedde eri abantu n'abakubiriza okwenyigira mu mirimu gy’ekika, okugula emigabo mu SACCO y’ekika, okuwagira eby’emizannyo mu kika saako n’okutwalanga abaana ku mikolo bwegiti.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka okuli; Christine Mugerwa Kasule, Ssabaganzi (Kojja wa Kabaka omukulu) Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko, eyaliko Omubaka w'e Nakaseke mu Palamenti, Misusera Kabugo, abaami ba Kabaka mu biti ebirala era bazzukulu abaavudde e Kyankwanzi n’e Ssese baasanyukiddwa nnyo.

Ensimbi obukadde 3,606,400 ze baasonze okutambuza omulimu gw’okumaliriza ofiisi yaabwe esangibwa e Kawaala nga ku zino  2,636,400/- zaabadde za buliwo ate  970,000/= zaabadde mu bisuubizo ng’okumaliriza ekizimbe kino betaaga obukadde bw’ensimbi 40.