Beebazizza Katonda olw'abayizi 57 bonna okuyitira mu ddaala erisooka

By Musasi wa Bukedde

Abayizi, abasomesa wamu n'abazadde b'essomero lya Yudesi Primary School beebazizza omutonzi olw'obuwanguzi bwe baafunye mu bigezo bya P.7.

2 350x210

BYA PROSSY NABABINGE

Abayizi, abasomesa wamu n'abazadde b'essomero lya Yudesi Primary School beebazizza omutonzi olw'obuwanguzi bwe baafunye mu bigezo bya P.7.

Bano baatuza abayizi 57 era nga bonna bayitidde mu ddaala erisooka.

 bazadde ku mukolo gwokwebaza atonda Abazadde ku mukolo gw'okwebaza Katonda

 

Sheik Suudi Kaweesa eyakulembeddemu edduwa ey'okwebaza yasiimye abayizi obutabaswaza olwo ye Rev. Julius Matovu n'akuutira abo bonna abeetabye mu kusaba kuno okukulembezanga Katonda mu buli kyebakola.

Abayizi bano bateekeddwako emikono okusobola okusigala nga bakola bulungi ku mutendera oguddako era oluvannyuma, dayirekita w'essomero lino Sir. Margret Mukasa awadde buli muyizi "pocket money" wa 50,000/- okubayambako mu Ssiniya.

 ayirekita argret ukasa ngali ne hafic atumba ono ye yakutte ekifo ekyokuna mu ampala nga yafunye obubonero 4 Dayirekita Margret Mukasa ng'ali ne Shafic Katumba, ono ye yakutte ekifo eky'okuna mu Kampala nga yafunye obubonero 4

Abasomesa nabo basimiddwa era nga buli D1 eyaleeteddwa mu ssomo obwedda esasulibwa 50,000/.

Oluvannyuma abayizi bano baweereddwa satifeketi wamu n'ekijjulo makeke okubasiima.